‘Kuumanga Omutima Gwo!’
Olukuŋŋaana Olunene Olw’abajulirwa ba Yakuwa
OMUTWE GW’OLWOKUTAANO
“Yakuwa Alaba Kiri mu Mutima.”—1 SAMWIRI 16:7, NW.
OMUTWE GW’OLWOMUKAAGA
“Ebijjula mu Mutima, Akamwa Bye Koogera.”—MATAYO 12:34.
OMUTWE GW’OKU SSANDE
‘Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna’—1 EBYOMUMIREMBE 28:9.
Bayibuli eyogera ku mutima emirundi nga lukumi. Emirundi egisinga obungi, Ebyawandiikibwa byogera ku mutima ogw’akabonero so si ku mutima gwennyini. Omutima ogw’akabonero kye ki? Ekigambo omutima kitera okukozesebwa okutegeeza ekyo omuntu kyali munda, kwe kugamba, ebirowoozo bye, enneewulira ye, ne bye yeegomba.
Lwaki tusaanidde okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero? Katonda yaluŋŋamya Kabaka Sulemaani okuwandiika ebigambo bino: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo ez’obulamu.” (Engero 4:23) Omutima gwaffe ogw’akabonero bwe guba mu mbeera ennungi tusobola okuba mu bulamu obweyagaza kati, era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo mu biseera eby’omu maaso. Lwaki? Kubanga Katonda alaba ekyo ekiri mu mitima gyaffe. (1 Samwiri 16:7) Katonda ky’asinga okutwala ng’ekikulu ky’ekyo kye tuli munda, ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima.’—1 Peetero 3:4.
Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa ezijja okubaawo mu nsi yonna era ezaatandika mu mwezi ogw’okutaano. Oyanirizibwa n’essanyu okubaawo ku nnaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana luno.a By’ojja okuyiga bijja kukuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa omutima gwa Yakuwa Katonda.—Engero 27:11.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ekifo ekikuli okumpi olukuŋŋaana luno we lunaabeera, genda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti www.pr418.com. Ate era oyinza okutuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba okuwandiikira abakuba magazini eno.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Photo on right: Aus dem Fundus der MÜNCHNER OLYMPIAPARK GMBH, München