LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 6/15 lup. 32
  • Kikulu Okulaga Abalala Ekisa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kikulu Okulaga Abalala Ekisa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 6/15 lup. 32

Kikulu Okulaga Abalala Ekisa

OW’OLUGANDA George ne mukyala we Manon, baatuukirira omukyala omukadde ayitibwa Rie okumubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, naye omukyala oyo n’abakambuwalira. Oluvannyuma baakitegeera nti omukyala oyo yali yafiirwako abaami babiri ne mutabani we era ng’alina n’obulwadde bw’amagumba. Wadde ng’omukyala oyo yamala n’abawuliriza, teyalaga nti yali ayagala bye baali bamuyigiriza.

Wadde kyali kityo, George yagamba Manon baddeyo ew’omukyala oyo n’ekisaaganda ky’ebimuli okuva bwe kiri nti omukyala oyo yalabika ng’alina ekiwuubaalo era ng’alina ebimunakuwazza. Bwe baddayo, omukyala oyo, yasanyuka nnyo okubalaba. Kyokka, yabagamba nti yali tasobola kusoma nabo ku olwo, bw’atyo n’abasaba okukomawo omulundi omulala. Baddayo ku lunaku lwe yali abagambye, naye ne batamusangayo. Baddayo emirundi emirala mingi, naye nga tebamusangayo. Baatuuka n’okulowooza nti yali abeekweka bwekwesi.

Kyokka lumu George bwe yaddayo ewa Rie, yamusangawo awaka. Rie yamwetondera olw’okuba yali tasobodde kubalaba nga bwe yali abasuubizza era n’amugamba nti yali mu ddwaliro. Era yamugamba nti okuva ku lunaku lwe baamukyalira, yatandika okusoma Bayibuli. George yakubaganya n’omukyala oyo ebirowoozo ku Bayibuli era omukyala oyo n’atandika okuyiga Bayibuli.

Rie bwe yeeyongera okuyiga Bayibuli, yalekera awo okuba omukambwe, n’afuuka omuntu ow’ekisa era omusanyufu. Wadde nga yali tasobola kuva waka, yatandikirawo okubuulirako buli omu eyamukyaliranga ku bintu bye yali ayiga. Okuva bwe kiri nti yali mulwadde, yali tasobola kugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna, naye yasanyukanga nnyo ab’oluganda bwe baamukyaliranga. Ku lunaku Rie kwe yawereza emyaka 82, yagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’ekitundu era n’abatizibwa.

Nga wayise emyezi mitono oluvannyuma lw’okufa kwa Rie, waliwo ekitontome kye yawandiika ekyazuulibwa. Mu kitontome ekyo, yayogera ku nnaku omuntu abeera yekka mu myaka egy’obukadde gy’awulira era n’alaga n’ensonga lwaki kikulu nnyo okulaga omuntu ng’oyo ekisa. Manon agamba nti: “Ebigambo ebyali mu kitontome ekyo byankwatako nnyo, nnali musanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa yatukozesa okumulaga ekisa.”

Mu butuufu, tusobola okulaga nti tukoppa Yakuwa bwe twoleka okwagala ng’okwo n’ekisa. (Bef. 5:1, 2) Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gujja kuvaamu ebibala singa “tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda” nga tulaga abalala ekisa.​—2 Kol. 6:4, 6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share