Semberera Katonda
Katonda bw’Atusonyiwa, Yeerabira?
YEE, yeerabira. Yakuwa asuubiza abaweereza be nti: “Ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” (Yeremiya 31:34) N’olwekyo, Yakuwa atukakasa nti bw’asonyiwa abantu ababa beenenyezza, tajjukira bibi byabwe. Naye ekyo kitegeeza nti Omutonzi w’ebitonde byonna tasobola kujjukira bibi by’abo b’aba asonyiye? Katonda okusonyiwa ne yeerabira kitegeeza ki? Ebigambo bya Ezeekyeri bituyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.—Soma Ezeekyeri 18:19-22.
Yakuwa yatuma nnabbi Ezeekyeri okulangirira omusango gwe yali asalidde eggwanga lya Yuda. Abantu b’eggwanga eryo bonna okutwalira awamu baali bavudde ku kusinza okw’amazima era baali beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Yakuwa yalagula nti Abababulooni bandizikirizza Yerusaalemi, ekibuga kya Yuda ekikulu. Naye bwe yali abategeeza omusango gwe yali abasalidde, yabawa n’essuubi. Buli muntu yalina okwesalirwo kubanga buli omu yali avunaanyizibwa ku lulwe.—Ennyiriri 19, 20.
Naye ate, singa omubi yaleka ebikolwa bye ebibi n’akola ebirungi? Yakuwa yagamba nti: “Omubi bw’akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n’akwata amateeka gange gonna, n’akola ebyalagirwa eby’ensonga, talirema kuba mulamu, talifa.” (Olunyiriri 21) Yakuwa yali mwetegefu okusonyiwa omwonoonyi eyandyenenyezza mu bwesimbu.—Zabbuli 86:5.
Ate byo ebibi omuntu oyo bye yakola? Yakuwa yagamba nti: “Tewaliba ku byonoono bye . . ebirijjukirwa.” (Olunyiriri 22) Ekyawandiikibwa kigambye nti ebibi by’omuntu eyeenenyezza ‘tebirijjukirwa.’ Ekyo kitegeeza ki?
Bayibuli bw’egamba nti Katonda yeerabira ebibi by’omuntu aba yeenenyezza, tekitegeeza nti Katonda tasobola kujjukira bibi bye twakola emabega. Naye kitegeeza nti talituvunaana oba okutubonereza olw’ebibi by’aba yatusonyiwa. N’olwekyo, Katonda bw’asonyiwa omuntu aba yeenenyezza, talimuvunaana oba okumubonereza mu biseera eby’omu maaso olw’ebibi ebyo.a
Ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 18:21, 22 biraga nti Yakuwa asonyiyira ddala. Bw’atusonyiwa talituvunaana olw’ebibi ebyo by’aba atusonyiye. Mu kifo kye ekyo, ebibi by’abo ababa beenenyezza abisuula emabega we. (Isaaya 38:17) Ebibi ebyo aba abisangulidde ddala.—Ebikolwa 3:19.
Olw’okuba tetutuukiridde, tusobya emirundi mingi. N’olwekyo twetaaga okusaasirwa Katonda. (Abaruumi 3:23) Yakuwa ayagala tukimanye nti bwe twenenya mu bwesimbu, mwetegefu okutusonyiwa. Ate bw’atusonyiwa, yeerabira. Yeerabira mu ngeri nti talituvunaana oba okutubonereza olw’ebibi by’aba atusonyiye. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Bw’olowooza ku busaasizi bwa Katonda, tekikuleetera kwagala kuba na nkolagana ey’oku lusegere naye?
[Obugambo obuli wansi]
a Mu ngeri y’emu, “okujjukira obutali butuukirivu” kiyinza okutegeeza “okubonereza ababi.”—Yeremiya 14:10.