LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 10/1 lup. 16-17
  • Kiki Ekinaabaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekinaabaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Olunaku olw’Okusalirako Omusango—Luzingiramu Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 10/1 lup. 16-17

Yiga Ebiri mu Kigambo kya Katonda

Kiki Ekinaabaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?

Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.

1. Olunaku olw’Okusalirako Omusango kye ki?

Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi ekiri ku ddyo, abantu bangi balowooza nti ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango, obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kutwalibwa mu maaso g’entebe ya Katonda basalirwe omusango okusinziira ku ebyo bye baakola. Balowooza nti abamu bajja kufuna empeera mu ggulu, ate abalala babonyaabonyezebwe mu muliro ogutazikira. Kyokka, yo Bayibuli eraga nti Yakuwa yassaawo olunaku olw’okusalirako omusango, asobole okuggyawo obutali bwenkanya obuli mu nsi. (Zabbuli 96:13) Katonda yalonda Yesu okuba Omulamuzi anaggyawo obutali bwenkanya n’okubonaabona.​—Soma Isaaya 11:1-5; Ebikolwa 17:31.

2. Obutali bwenkanya bunaggibwawo butya ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?

Adamu, omuntu eyasooka, bwe yajeemera Katonda, yaleetera abantu bonna okusikira ekibi, okubonaabona, n’okufa. (Abaruumi 5:12) Okusobola okuggyawo obutali bwenkanya obwo, Yesu ajja kuzuukiza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti ekyo Yesu ajja ku kikola mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi.​—Soma Okubikkulirwa 20:4, 11, 12.

Abo abanaazukizibwa bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye banaakola nga bamaze okuyigirizibwa ebiri mu ‘mizingo’ egyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 20, so si kusinziira ku ebyo bye baakola nga tebannafa. (Abaruumi 6:7) Omutume Pawulo yagamba nti, “abatuukirivu n’abatali batuukirivu” bajja kuzuukizibwa. Bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Katonda.​—Soma Ebikolwa 24:15.

3. Abantu baliganyulwa batya mu Lunaku olw’Okusalirako Omusango?

Abo abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza bajja kufuna akakisa ako. Abo abanaakola ebintu ebirungi bajja kuba ‘bazuukiridde obulamu.’ Kyokka, abamu ku abo abanaazuukizibwa, bajja kugaana okuyiga ebikwata ku Katonda. Bo bajja kuba ‘bazuukiridde omusango.’​—Soma Yokaana 5:28, 29; Isaaya 26:10; 65:20.

Olunaku olw’Okusalirako Omusango olujja okumala emyaka olukumi we lunaggwerako, Yakuwa ajja kuba amaze okuyamba abantu abawulize okufuuka abatuukiridde nga Adamu bwe yali. (1 Abakkolinso 15:24-28) Awatali kubuusabuusa abantu abawulize bajja kufuna enkizo ya maanyi nnyo. Mu myaka egyo olukumi, Sitaani Omulyolyomi ajja kuba asibiddwa mu bunnya, naye ku nkomerero yaagyo ajja kusumululwa. Wajja kubaawo okugezesebwa okusembayo era Sitaani ajja kuddamu okubuzaabuza abantu ng’ayagala okubaggya ku Yakuwa, naye abo abanaagaana okugoberera Sitaani bajja kunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna.​—Soma Isaaya 25:8; Okubikkulirwa 20:7-9.

4. Lunaku ki olulala olw’okusalirako omusango olujja okuganyula abantu?

Bayibuli era ekozesa ebigambo ‘olunaku olw’omusango’ ng’eyogera ku kuzikirizibwa kw’enteekateeka ya Sitaani eriwo. Okuzikirizibwa okwo kujja kujjira mu kiseera abantu kye batakusuubiriramu, nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, Amataba lwe gajja ne gazikiriza abantu bonna ababi. Mu kiseera ekitali kya wala, “abantu abatatya Katonda” bajja kuzikirizibwa, waddewo ensi empya “obutuukirivu mwe bulibeera.”​—Soma 2 Peetero 3:6, 7, 13.

Okumanya ebisingawo, laba olupapula 213-215 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

“The Last Judgement,” by Gustave Doré, 1832-1883

[Ensibuko y’Ekifaananyi]

Engravings by Doré

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share