LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 2/15 lup. 31-32
  • Firimu Eyajjira mu Kiseera Ekituufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Firimu Eyajjira mu Kiseera Ekituufu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 2/15 lup. 31-32
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Etterekero Lyaffe

Firimu Eyajjira mu Kiseera Ekituufu

ABANTU bangi abaalaba firimu eyitibwa “Creation Drama” bagamba nti eyo ye firimu gye batasobola kwerabira. Mu butuufu, firimu eyo yayamba nnyo mu kuwa obujulirwa ku Yakuwa nga Hitler tannatandika kuyigganya Bajulirwa ba Yakuwa mu Bulaaya. Naye firimu eyitibwa “Creation Drama” yali ekwata ku ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Ekitabo Schöpfung (Creation) okwava erinnya lya firimu ya “Creation Drama”

Mu 1914 ekitebe ekikulu eky’abantu ba Yakuwa mu Brooklyn, New York, Amerika, kyafulumya firimu eyitibwa “Photo-Drama of Creation.” Firimu eyo yali emala essaawa munaana, ng’erimu amaloboozi n’ebifaananyi ebiri mu langi ez’enjawulo. Obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi baalaba firimu eyo. Ate era mu 1914, firimu ya “Photo-Drama of Creation” ennyimpimpi eyitibwa “Eureka Drama” nayo yafulumizibwa. Kyokka omwaka gwa 1920 we gwatuukira, ebintu ebyakozesebwanga mu kulaga firimu byali bikaddiye nnyo. Naye abantu baali bakyetaaga okulaba firimu ya “Photo-Drama.” Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu kibuga Ludwigsburg eky’omu Bugirimaani baabuuzanga ab’oluganda nti, “Munaddamu ddi okulaga firimu ya ‘Photo-Drama’?” Kiki ab’oluganda kye baakola?

Okusobola okukakasa nti abantu beeyongera okulaba firimu ya “Photo-Drama,” mu myaka gya 1920 ab’oluganda abaali batwala obukulembeze ku Beseri y’omu kibuga Magdeburg ekya Bugirimaani baagula ebintu ebipya eby’okukozesa okulaga firimu eyo. Ebimu ku byo baabigula mu kibuga Paris ekya Bufalansa ate ebirala ne babigula mu kibuga Leipzig ne Dresden. Ebintu ebyo bye baagula awamu n’ebirala ebyali bikyali ebiramu baabikozesa okulaga firimu ya “Photo-Drama.”

Ow’oluganda Erich Frost, eyalina ekitone mu kukuba ebivuga, yayiiya obuyimba obugendera ku firimu eyo. Ebigambo ow’oluganda eyayogerera firimu eyo bye yayogera byaggibwa mu kitabo kyaffe ekiyitibwa Creation. Eyo ye nsonga lwaki firimu ya “Photo-Drama” eyali eyongeddwamu ebirungo yayitibwa “Creation Drama.”

Firimu ya “Creation Drama” nayo yali emala essaawa munaana era ng’eragibwa mu bitundutundu buli kawungeezi okumala ennaku eziwerako. Yali eraga engeri ebintu gye byatondebwamu, yalimu ebyafaayo okuva mu Bayibuli ne mu nsonda endala, era yalaga engeri amadiini ag’obulimba gye gaali gabuzaabuzizzaamu abantu. Firimu ya “Creation Drama” yalagibwa mu Austria, Bugirimaani, Luxemburg, Switzerland, ne mu bitundu by’ensi ebirala awaali abantu aboogera Olugirimaani.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Ow’oluganda Erich Frost n’olupapula lw’obuyimba obwali mu firimu ya “Creation Drama”

Ow’oluganda Erich Frost yagamba nti: “Bwe twabanga tulaga firimu eyo, nnakubirizanga bannange, naddala abo abaali bakuba ebivuga, okukozesa ekiseera eky’okuwummulamu okugabira abantu ebitabo byaffe. Twagabanga ebitabo bingi n’okusinga ebyo bye twagabanga nga tubuulira nnyumba ku nnyumba.” Ow’oluganda Johannes Rauthe, eyalaga firimu ya “Creation Drama” mu Poland ne mu Czech Republic, yagamba nti abantu abaalabanga firimu eyo baalekanga endagiriro zaabwe, era ekyo kyasobozesanga ab’oluganda okubaddiŋŋana.

Mu myaka gya 1930, abantu bangi bajjanga okulaba firimu ya “Creation Drama” era ebizimbe omwalagirwanga firimu eyo byajjulanga ne bikubako. Buli wamu mu kibuga, abantu baabanga boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa. Omwaka gwa 1933 we gwatuukira, ofiisi y’ettabi lyaffe ery’e Bugirimaani yali emaze okulaga firimu eyo abantu ng’akakadde kalamba. Mwannyinaffe Käthe Krauss agamba nti: “Okusobola okulaba firimu eyo, buli lunaku, okumala ennaku ttaano, twatambulanga mayiro 12 amagenda n’amadda, nga tuyita mu bibira, mu biwonvu, ne mu nsozi.” Mwannyinaffe Else Billharz agamba nti: “Firimu ya ‘Creation Drama’ yandeetera okwagala okuyiga amazima.”

Ow’oluganda Alfred Almendinger agamba nti maama we bwe yalaba firimu eyo, “yakwatibwako nnyo era n’agula Bayibuli anoonyeemu ekigambo ‘puligaatooli.’” Bwe yakizuula nti ekigambo ekyo tekyali mu Bayibuli, yasalawo okuva mu ddiini ye n’abatizibwa. Ow’oluganda Erich Frost yagamba nti: “Firimu ya ‘Creation Drama’ yayamba abantu bangi okuyiga amazima.”​—3 Yok. 1-3.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Mu kiseera abantu we beeyongerera okulaba firimu ya “Creation Drama,” ekibiina ky’Abanazi nakyo kyali kyeyongera amaanyi mu Bulaaya. Mu 1933, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani gwawerebwa. Okuva mu mwaka ogwo okutuukira ddala ku nkomerero ya Ssematalo II mu 1945, Abajulirwa ba Yakuwa mu Bulaaya baayigganyizibwa nnyo. Ow’oluganda Erich Frost yamala emyaka nga munaana mu kkomera. Naye Yakuwa yamuyamba okuva mu kkomera era oluvannyuma yaweereza ku Beseri mu kibuga Wiesbaden ekya Bugirimaani. Tewali kubuusabuusa nti firimu ya “Creation Drama” yajjira mu kiseera ekituufu n’eyamba abaweereza ba Yakuwa okuba abavumu ne basobola okugumira okugezesebwa kwe baayolekagana nakwo mu Ssematalo II!​—Okuva mu tterekero lyaffe mu Bugirimaani.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share