BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Lwaki Yesu ayitibwa Omwana wa Katonda?
Katonda talina mukazi gwe yazaalamu baana. Ye yatonda ebintu byonna ebiramu. Abantu baatondebwa nga balina obusobozi bw’okukoppa engeri za Katonda. Eyo ye nsonga lwaki Adamu, omuntu Katonda gwe yasooka okutonda, ayitibwa “omwana wa Katonda.” Mu ngeri y’emu, Yesu ayitibwa “Omwana wa Katonda” kubanga yatondebwa n’engeri ng’eza Kitaawe.—Soma Lukka 3:38; Yokaana 1:14, 49.
Yesu yatondebwa ddi?
Katonda yatonda Yesu nga tannatonda Adamu. Mu butuufu, Katonda yasooka kutonda Yesu, oluvannyuma n’amukozesa okutonda ebintu ebirala byonna, nga mw’otwalidde ne bamalayika. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli eyita Yesu “omubereberye w’ebitonde byonna” Katonda bye yatonda.—Soma Abakkolosaayi 1:15, 16.
Yesu bwe yali nga tannazaalibwa mu Besirekemu, yali abeera mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo. Ekiseera kyatuuka, Katonda n’akyusa obulamu bwa Yesu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu asobole okuzaalibwa ng’omuntu wano ku nsi.—Soma Lukka 1:30-32; Yokaana 6:38; 8:23.
Lwaki Yesu yazaalibwa ku nsi ng’omuntu? Kintu ki ekikulu ennyo Yesu kye yakola? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo osobola okubifuna mu Bayibuli, era bijja kukuyamba okwongera okumanya n’okusiima ekyo Katonda ne Yesu kye baakukolera.