EBIKWATAGANA N’EBIRI KU NGULU: OSOBOLA OKUBA N’OBULAMU OBW’AMAKULU
Ddala Osobola Okuba n’Obulamu obw’Amakulu?
“Tuwangaala emyaka nsanvu, oba kinaana, omuntu bw’aba omugumu ennyo, naye gijjudde ebizibu n’ennaku.”—Zabbuli 90:10, NW.
EBIGAMBO ebyo bituufu ddala! Obulamu mu nsi eno bujjudde “ebizibu n’ennaku.” Oboolyawo weebuuza, ‘Ddala kisoboka okuba n’obulamu obw’amakulu?’
Lowooza ku mukyala omu ayitibwa Maria. Yali mukozi nnyo, naye kati ku myaka 84 takyasobola na kuva mu nnyumba. Obwongo bwe bukyakola bulungi naye omubiri gwe gunafuye nnyo. Ddala omuntu ali mu mbeera ng’eyo asobola okugamba nti obulamu bwe bwa makulu?
Ate kiri kitya eri ggwe? Oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako obanga obulamu bwo bwa makulu. Oyinza okuba ng’omulimu gw’okola gukukooya nnyo era nga gwakutama. Ate era wadde ng’okola nnyo, bangi bayinza okuba nga tebasiima by’okola. Obulamu bw’olimu kati buyinza okuba nga bulungiko, naye ng’ate weeraliikirira ebiseera byo eby’omu maaso. Oluusi oyinza okuba ng’owulira ekiwuubaalo oba ng’oli mwennyamivu. Ate era obufumbo bwo buyinza okuba nga bulimu ebizibu oba oyinza okuba nga wafiirwa omuntu wo gw’oyagala ennyo. Omwami omu ayitibwa André yali ayagala nnyo kitaawe, kyokka kitaawe yalwalira akaseera katono n’afa. Ekyo kyaleetera André ennaku etagambika n’ekiwuubaalo eky’amaanyi.
Ka tube nga twolekagana na bizibu bya ngeri ki oba nga tuli mu nnaku ey’amaanyi, waliwo ekintu ffenna kye twetaaga okumanya: Ddala kisoboka okuba n’obulamu obw’amakulu? Tusobola okufuna eky’okuddamu bwe twetegereza ebikwata ku bulamu bwa Yesu Kristo, eyaliwo emyaka nga 2,000 emabega. Wadde nga Yesu yayolekagana n’ebizibu bingi, obulamu bwe bwali bwa makulu. Bwe tumukoppa, naffe tusobola okuba n’obulamu obw’amakulu.