LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 8/15 lup. 31-32
  • Kabaka Yasanyuka nnyo!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kabaka Yasanyuka nnyo!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 8/15 lup. 31-32
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

ETTEREKERO LYAFFE

Kabaka Yasanyuka Nnyo!

MU AGUSITO 1936, Ow’oluganda Robert Nisbet ne George Nisbet baagenda mu lubiri lwa Kabaka Sobhuza II owa Swaziland ne bamuteerako obutambi okwali ennyimba z’Obwakabaka awamu n’emboozi z’Ow’oluganda J. F. Rutherford. Kabaka oyo yasanyuka nnyo. Ow’oluganda George yagamba nti, ‘Naye ekyatwewuunyisa kwe kuba nti kabaka oyo yali ayagala okugula ebyuma bye twali tukozesa, obutambi bwaffe, awamu n’emizindaalo gyaffe.’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

[Ensibuko y’Ekifaananyi]

Robert yagamba kabaka nti kyali tekisoboka kumuguza bintu ebyo. Lwaki? Kubanga byaliko nnyini byo. Kabaka yayagala okumanya ani yali nnannyini byo.

Robert yamuddamu nti, “Bya Kabaka omulala.” Sobhuza yamusaba amubuulire erinnya lya Kabaka oyo. Robert yamugamba nti: “Ye Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.”

Sobhuza yagamba nti: “Kabaka oyo wa kitiibwa nnyo. Saagala kutwala kintu kye kyonna.”

Robert yagamba nti: ‘Kabaka Sobhuza yalina engeri ennungi. Wadde nga yali ayogera bulungi Olungereza, teyalina malala. Ate era yali mwesimbu era ng’atuukirikika. Nnamala eddakiika 45 nga ndi naye mu ofiisi ye nga George ali wabweru ataddeko ennyimba.’

Robert era yagamba nti: ‘Bwe twava awo twagenda ku ssomero eriyitibwa Swazi National School, era ebyali eyo byatusanyusa nnyo. Twayogerako n’omukulu w’essomero, era yatuwuliriza bulungi. Bwe twamugamba nti twalina obutambi bwe twali tusobola okuteerako abaana bonna ne bawuliriza, yasanyuka nnyo era n’ayita abaana nga kikumi n’abagamba okutuula wansi ku muddo bawulirize. Baatugamba nti essomero eryo lyayigirizanga abalenzi okulima, okubajja, okuzimba, Olungereza, n’okubala; era nti lyatendekanga abawala obusawo, okukola emirimu gy’awaka, n’emirimu emirala egy’omugaso.’ Jjajja wa Sobhuza omukazi ye yatandikawo essomero eryo.a

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Abayizi b’essomero ly’omu Swaziland abaawuliriza emboozi mu 1936

Bapayoniya baatandika okukyalira Kabaka Sobhuza mu lubiri lwe okuva 1933 era yabawulirizanga. Lumu, kabaka oyo yakuŋŋaanya abakuumi be 100 bawulirize obubaka bw’Obwakabaka. Yasaba okufunanga magazini zaffe buli mwezi era yakkirizanga n’ebitabo byaffe. Mu kiseera kitono Kabaka Sobhuza yali awezezza ebitabo byaffe bingi mu tterekero lye! Ebitabo ebyo yabikuuma ne mu kiseera ebitabo byaffe bwe byali nga biwereddwa mu matwale ga Bungereza nga Ssematalo II agenda mu maaso.

Kabaka Sobhuza II yayanirizanga Abajulirwa ba Yakuwa ne mu lubiri lwe olw’e Lobamba, era yayitanga n’abakulembeze b’amadiini okujja okuwuliriza emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Lumu ow’oluganda ayitibwa Helvie Mashazi bwe yali annyonnyola Matayo essuula 23, abakulembeze b’eddiini abamu baanyiiga nnyo ne bamulagira okulekera awo okwogera era atuule. Naye kabaka yagamba Ow’oluganda Mashazi agende mu maaso. Ate era yalagira n’abo abaaliwo okuwandiika buli kyawandiikibwa ow’oluganda oyo kye yakoonangako!

Ku mulundi omulala, oluvannyuma lw’okuwulira emboozi payoniya omu gye yawa, abakulembeze b’eddiini abana abaaliwo baakweka akantu akeeru akabeera mu bulago bwabwe ne bagamba nti: “Tetukyali bakulembeze ba ddiini, kati tuli Bajulirwa ba Yakuwa.” Era baasaba payoniya oyo abawe ku bitabo ng’ebyo Kabaka Sobhuza bye yalina.

Okuva mu myaka gya 1930 okutuusa lwe yafa mu 1982, Kabaka Sobhuza yayisanga bulungi Abajulirwa ba Yakuwa, era teyakkirizanga muntu yenna kubayigganya olw’obutakolera ku bulombolombo bw’obwakabaka bwa Swaziland. Eyo ye nsonga lwaki bwe yafa, Abajulirwa ba Yakuwa baawulira ennaku ey’amaanyi.

Omwaka gwa 2013 we gwatandikira, mu Swaziland mwalimu ababuulizi b’Obwakabaka abasukka 3,000. Mu nsi eyo mulimu abantu ng’akakadde kamu, era okutwalira awamu buli mubuulizi alina okubuulira abantu nga 384. Mu mwaka gwa 2012, mu Swaziland mwalimu bapayoniya abasukka mu 260 n’ebibiina 90, era mu mwaka ogwo abantu 7,496 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ekyo kiraga bulungi nti mu nsi eyo mulimu abantu bangi abakyasobola okuyiga amazima. Ekyo kiri kityo kubanga waliwo ab’oluganda abaatandika okusiga ensigo ez’amazima mu Swaziland mu myaka gya 1930.​—Okuva mu tterekero lyaffe mu South Africa.

a The Golden Age, Jjuuni 30, 1937, olupapula 629.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share