LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 2/1 lup. 10
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Yesu Alongoosa Yeekaalu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yesu Alongoosa Yeekaalu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yeekaalu ya Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 2/1 lup. 10

OBADDE OKIMANYI?

Alowe ayogerwako mu Bayibuli kye ki?

Omuti oguyitibwa Agarwood

Alowe Yaggibwanga mu muti oguyitibwa Agarwood

Alowe byali bya kaloosa ebyakozesebwanga mu biseera eby’edda. (Yokaana 19:39) Eby’akaloosa ebyo kirabika byaggibwanga mu kika ky’omuti oguyitibwa Agarwood. Omuti ogwo bwe gutandika okuvunda guvaamu amafuta agawunya akawoowo. Omuti ogwo gwaseebwanga ne guggibwamu ensaano ewunya akawoowo eyitibwa “alowe” n’etundibwa.

Bayibuli egeraageranya weema z’Abaisiraeri ku “miti gya alowe Yakuwa gye yasimba.” (Okubala 24:5, 6, NW) Ekyo kituukirawo bulungi ku kikula ky’omuti oguyitibwa Agarwood oguyinza okuweza obuwanvu bwa ffuuti nga 100. Wadde nga mu kiseera kino omuti ogwo teguliiyo mu Isiraeri, ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: “Omuti ogwo n’emiti emirala egitamanyiddwa [mu kitundu ekyo] gyasimbibwanga mu kiwonvu kya Yoludaani ekyali ekigimu ennyo mu kiseera ekyo.”

Biweebwayo bya ngeri ki ebyakkirizibwanga mu yeekaalu e Yerusaalemi?

Akayinja akaasangibwa okumpi n’awaali yeekaalu mu Yerusaalemi

Akayinja kano akaasangibwa okumpi n’awaali yeekaalu mu Yerusaalemi kaakamala emyaka nga 2,000

Katonda yalagira Abaisiraeri okutwalanga mu yeekaalu ebiweebwayo ebisingayo obulungi. Ekiweebwayo ekyabangako obulemu, Katonda teyakikkirizanga. (Okuva 23:19; Eby’Abaleevi 22:21-24) Okusinziira ku muwandiisi w’ebitabo Omuyudaaya ayitibwa Philo eyaliwo mu kyasa ekyasooka embala eno, bakabona beekebejjanga ekisolo “okuva ku mutwe okutuuka ku bigere” okukakasa nti kiramu bulungi era nti “tekiriiko bulemu bwonna.”

Omuwandiisi omulala ayitibwa E.  P.  Sanders agamba nti “abantu abakkirizibwanga okutunda ebisolo oba ebinyonyi eby’okuwaayo mu yeekaalu baatundanga ebyo byokka bakabona bye baabanga bamaze okwekebejja. Oyo eyabanga atunze ekisolo yawanga oyo eyabanga akiguze akayinja akalaga nti ekyo ky’amuguzizza tekiriiko bulemu bwonna.”

Mu 2011, abayiikuula eby’omu ttaka baazuula akamu ku buyinja obwo okumpi n’awaali yeekaalu. Kaakamala emyaka nga 2,000. Ebigambo ebibiri eby’Olulamayiki ebikaliko byavvuunulwa nti “Kitukuvu eri Katonda.” Kigambibwa nti abakungu b’omu yeekaalu baateekanga obuyinja obwo ku bintu oba ku nsolo ezaaweebwangayo nga ssaddaaka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share