LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 4/1 lup. 3
  • Lwaki Abantu Basaba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Abantu Basaba?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okusemberera Katonda mu Kusaba
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yesu Atuyigiriza Okusaba
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 4/1 lup. 3
Omulenzi ng’asaba

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KIKULU OKUSABA KATONDA?

Lwaki Abantu Basaba?

Otera okusaba? Abantu bangi basaba nga mw’otwalidde n’abamu ku abo abatakkiririza mu Katonda. Naye lwaki abantu basaba? Okunoonyereza okwakolebwa mu Bufalansa kwalaga nti abantu 50 ku buli kikumi oluusi basaba oba bafumiitiriza olw’okuba baagala “okufuna ku buweerero” so si lwa kuba nti bakkiririza mu Katonda. Ku luuyi olulala, abantu abamu abakkiririza mu Katonda bwe bafuna ebizibu lwe bajjukira okusaba Katonda nga basuubira nti ajja kubaddamu mu kiseera ekyo kyennyini.​—Isaaya 26:16.

Ate ggwe olowooza otya? Wandisabye olw’okuba oyagala bwagazi kufuna buweerero? Bw’oba okkiririza mu Katonda, okusaba kukuyamba mu bulamu bwo, oba muli owulira nti essaala zo teziddibwamu? Bayibuli eraga nti okusaba kutusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, so si kufuna bufunyi buweerero.

Abantu nga basaba: Omusambi w’omupiira ng’ateebye goolo, omwami ne mukyala we omulwadde nga bali mu ddwaliro, abajaasi nga bagenda mu lutalo
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share