LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 8/1 lup. 7
  • Katonda Ayagala Obe Mukwano Gwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Ayagala Obe Mukwano Gwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Ddala Yakuwa Akufaako?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Omusumba Akufaako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 8/1 lup. 7

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Ayagala Obe Mukwano Gwe

“Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.”​—YOKAANA 6:44.

ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Bangi bakkiririza mu Katonda naye bawulira nga tebalina nkolagana ya ku lusegere naye. Omukyala omu ayitibwa Christina abeera mu Ireland, eyali tayosa kugenda mu kkanisa, yagamba nti: “Nnali nkimanyi nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Naye olw’okuba nnali simanyi bimukwatako, nnali sirina nkolagana ya ku lusegere naye.”

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Ne bwe tuba tuwulira nga tetulina nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa, talekera awo kutuyamba. Bwe yali alaga engeri Yakuwa gy’atufaako, Yesu yagamba nti: “Omuntu bw’aba n’endiga kikumi, emu n’ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda okunoonya emu ebuze? Mu ngeri y’emu, Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”​—Matayo 18:12-14.

Buli omu ku “bato bano” wa muwendo nnyo eri Katonda. Katonda ‘anoonya atya endiga eba ebuze’? Okusinziira ku kyawandiikibwa ekiri ku ntandikwa y’ekitundu kino, akikola ng’ayamba abantu okuyiga ebimukwatako.

Abajulirwa ba Yakuwa nga babuulira omusajja mu kifo awayita abantu abangi

Baani leero abakyalira abantu mu maka gaabwe ne mu bifo ebya lukale ne bababuulira ebikwata ku Katonda?

Lowooza ku ngeri Katonda gye yayambamu abantu abeesimbu okuyiga ebimukwatako mu kyasa ekyasooka. Katonda yatuma omuyigirizwa Firipo agende eri omukungu Omwesiyopiya amunnyonnyole obunnabbi obwali mu muzingo omukungu oyo gwe yali asoma. (Ebikolwa 8:26-39) Oluvannyuma lw’ekiseera, Katonda yagamba omutume Peetero okugenda ew’omusirikale Omuruumi eyali ayitibwa Koluneeriyo, eyali asaba ennyo era ng’afuba okusinza Katonda. (Ebikolwa 10:1-48) Ate era Katonda yayamba omutume Pawulo wamu ne banne okugenda ku mugga ogwali ebweru w’ekibuga Firipi, gye baasanga omukazi ayitibwa Liidiya. Liidiya yali “asinza Katonda” era “Yakuwa yaggula omutima gwe n’assaayo omwoyo ku bintu Pawulo bye yali ayogera.”​—Ebikolwa 16:9-15.

Ebyokulabirako ebyo biraga nti Katonda yayamba abo abaali baagala okumutegeera. Baani leero abakyalira abantu mu maka gaabwe ne mu bifo ebya lukale ne bababuulira ebikwata ku Katonda? Bw’obuuza abantu ekibuuzo ekyo, abasinga obungi bajja kukuddamu nti, “Abajulirwa ba Yakuwa.” Weebuuze, ‘Kyandiba nti Katonda abakozesa bannyambe okumanya ebimukwatako?’ Tukukubiriza okusaba Katonda akuyambe okutegeera ebimukwatako osobole okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.a

a Okumanya ebisingawo, laba vidiyo erina omutwe ogugamba nti Why Study the Bible? eri ku mukutu www.pr418.com.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share