LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 12/1 lup. 6
  • Okola Katonda by’Ayagala?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okola Katonda by’Ayagala?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • “Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 12/1 lup. 6
Omusajja ng’agenda okusitulirako omukazi ebintu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA

Okola Katonda by’Ayagala?

“Kyonna ky’oyagala nkukolere kiŋŋambe, nja kukikukolera.” Omuntu gw’otomanyi, oba oyo atali mukwano gwo si kyangu kumugamba bigambo ebyo. Kyokka, mukwano gwo nfiirabulago osobola okubimugamba nga tolina nkenyera yonna. Abantu ababiri ab’omukwano buli omu akola ebisanyusa munne.

Bayibuli eraga nti bulijjo Yakuwa akolera abaweereza be ebirungi. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi eyali mukwano gwa Katonda yagamba nti: ‘Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo gye tuli. Singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika obungi.’ (Zabbuli 40:5) Ate era n’abo abatannaba kumanya Yakuwa, Yakuwa abakolera ebirungi ‘ng’abawa emmere mu bungi era ng’ajjuza emitima gyabwe essanyu.’​—Ebikolwa 14:17.

Abo be twagala era be tussaamu ekitiibwa tubakolera ebirungi

Okuva bwe kiri nti Yakuwa akolera abantu ebirungi, abo abaagala okuba mikwano gye nabo balina okukola ‘ebisanyusa omutima gwe.’ (Engero 27:11) Naye biki by’oyinza okukola okusanyusa Katonda? Bayibuli egamba nti: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana ebintu n’abalala, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.” (Abebbulaniya 13:16) Ekyo kitegeeza nti okukola ebirungi n’okuyamba abalala bye byokka ebyetaagisa okusobola okusanyusa Katonda?

Nedda. Bayibuli egamba nti: “Awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda.” (Abebbulaniya 11:6) Ibulayimu yamala ‘kukkiririza mu Yakuwa’ n’alyoka ayitibwa “mukwano gwa Yakuwa.” (Yakobo 2:23) Yesu Kristo naye yakiggumiza nti kikulu nnyo ‘okukkiririza mu Katonda’ bwe tuba twagala Katonda atuwe emikisa. (Yokaana 14:1) Kati olwo, oyinza otya okufuna okukkiriza okunaakusobozesa okufuuka mukwano gwa Katonda? Ekimu ku by’osaanidde okukola kwe kusoma Bayibuli buli lunaku. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna “okumanya okutuufu okw’ebyo by’ayagala” osobole “okumusanyusiza ddala.” Bw’onoogenda weeyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda n’okukolera ku ebyo by’oyiga, ojja kweyongera okumukkiririzaamu n’okuba mukwano gwe ow’oku lusegere.​—Abakkolosaayi 1:9, 10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share