BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Biki ebiribaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?
Lwaki olunaku olw’okusalirako omusango kijja kuba kiseera kya ssanyu?
Mu biseera eby’edda, Katonda yakozesanga abalamuzi okulokola abantu be okuva mu butali bwenkanya. (Ekyabalamuzi 2:18) Bayibuli eraga nti Olunaku olw’Okusalirako Omusango kijja kuba kiseera kya ssanyu era nti mu kiseera ekyo Yakuwa, Omulamuzi w’ensi yonna, ajja kulokola abantu okuva mu butali bwenkanya.—Soma Zabbuli 96:12, 13; Isaaya 26:9.
Katonda yalonda Yesu okulamula abalamu n’abafu mu bwenkanya. (Ebikolwa 10:42; 17:31) Waliwo abantu bangi abaafa nga tebayize bikwata ku Katonda. Ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango, Yesu ajja kubazuukiza bayigirizibwe ebikwata ku Katonda ow’amazima basobole okumwagala.—Soma Ebikolwa 24:15.
Lwaki Olunaku olw’Okusalirako Omusango lujja kumala emyaka lukumi?
Abafu bajja kuzuukizibwa mu kiseera eky’emyaka olukumi. (Okubikkulirwa 20:4, 12) Abantu abo bajja kuba beetaaga ekiseera ekimala okuyiga ebyo Katonda by’ayagala n’okukiraga nti bamugondera. Okwawukana ku ekyo bangi kye bagamba, Bayibuli eraga nti abantu bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye banaakola oluvannyuma lw’okuzuukizibwa.—Soma Abaruumi 6:7.
Bayibuli era eyogera ku lunaku olw’omusango olujja okubaawo ng’emyaka olukumi teginnatandika. Olunaku olwo luyitibwa olunaku olw’enkomerero ng’ebitundu ebisooka mu katabo kano bwe biraga. Ku lunaku olwo, Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi bonna. (2 Peetero 3:7) N’olwekyo, tusaanidde okukiraga nti twagala nnyo Katonda.—Soma 2 Peetero 3:9, 13.