LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 10/1 lup. 4
  • Ddala Waliwo Awulira Essaala Zaffe?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Waliwo Awulira Essaala Zaffe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ddala Katonda Awulira Essaala Zaffe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/1 lup. 4
Yesu asaba ng’atunudde waggulu, abayigirizwa be bakutamizza emitwe

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Ddala Waliwo Awulira Essaala Zaffe?

Abantu abamu bawulira nti okusaba kuba kumala biseera, era nti tewali awulira ssaala zaabwe. Ate abalala bagamba nti essaala zaabwe teziddibwamu. Omuntu omu atakkiririza mu Katonda yasaba Katonda ng’agamba nti: “Nkuba akaama.” Naye bwe yamala okusaba yagamba nti Katonda “yasirika busirisi.”

Kyokka, Bayibuli egamba nti waliwo Katonda awulira essaala zaffe. Bayibuli egamba nti: “[Katonda] talirema kukukwatirwa kisa olw’eddoboozi ery’okukaaba kwo; bw’aliwulira alikwanukula.” (Isaaya 30:19) Ate era Bayibuli egamba nti: “Okusaba kw’abagolokofu kw’asanyukira.”​—Engero 15:8.

Yesu yasaba Kitaawe era “yawulirwa.”​—Abebbulaniya 5:7

Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, era kyogera ku abantu abaasaba, Katonda n’awulira essaala zaabwe. Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo ‘yeegayirira era yasaba Oyo eyali ayinza okumulokola era yawulirwa.’ (Abebbulaniya 5:7) Ebyokulabirako ebirala biri mu Danyeri 9:21 ne mu 2 Ebyomumirembe 7:1.

Kati olwo, lwaki essaala z’abantu abamu teziddibwamu? Essaala okusobola okuddibwamu, tulina okusaba Katonda omu ow’amazima ayitibwa Yakuwa,a so si muntu mulala yenna. Katonda era ayagala tusabe ebintu ‘ebituukagana n’ebyo by’ayagala.’ Bwe tusaba mu ngeri entuufu, Katonda “atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) N’olwekyo, bwe tuba twagala Katonda awulire essaala zaffe, twetaaga okumumanya n’okumanya by’ayagala.

Abantu bangi bakkiriza nti okusaba tekuba kutuusa butuusa luwalo, wabula nti Katonda awulira essaala zaabwe. Isaac abeera e Kenya, agamba nti: “Nnasaba Katonda annyambe okutegeera Bayibuli era oluvannyuma lw’akaseera katono, ne nfuna anjiririza Bayibuli.” Omukyala ayitibwa Hilda ow’omu Philippines, yali ayagala kulekera awo kunywa sigala. Yagezaako emirundi egiwera naye ng’alemererwa, omwami we yamugamba nti, “Saba Katonda akuyambe.” Yakolera ku magezi ago era agamba nti: “Nneewuunya nnyo engeri Katonda gye yannyambamu. Oluvannyuma nnatandika okuwulira nga sikyayagala kunywa ssigala, era nnamuvaako.”

Naawe Katonda ajja kukuyamba bw’onoomusaba ebintu ebituukagana n’ebyo by’ayagala. Ekyo okikakasiza ku ki?

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share