OBADDE OKIMANYI?
Emizingo egyogerwako mu Bayibuli gyakolebwanga gitya, era gyakozesebwanga gitya?
Emizingo gy’ekitabo kya Eseza egy’omu kyasa ekya 18 embala eno, egyakolebwa mu maliba ne mu mpapula eŋŋumu
Enjiri ya Lukka eraga nti Yesu yayanjuluza omuzingo gwa nnabbi Isaaya n’agusoma, oluvannyuma n’aguzingako. Omutume Yokaana naye bwe yali afundikira enjiri gye yawandiika, yagamba nti teyawandiika mu muzingo gwe ebyamagero byonna Yesu bye yakola.—Lukka 4:16-20; Yokaana 20:30; 21:25.
Emizingo gyakolebwanga gitya? Ebintu ng’amaliba oba ebitoogo, byagattibwanga wamu ne ggaamu ne bikolebwamu ekintu ekiringa olupapula oluwanvu. Oluvannyuma lwazingibwanga ku kati ng’oludda kwe bawandiise ebigambo luli munda ne gufuuka omuzingo, era ebigambo byabanga wakati. Omuzingo bwe gwabanga omuwanvu, gwabangako obuti bubiri ku njuyi zombi, era omusomi yazingululanga oluuyi olumu nga bw’azinga oluuyi olulala okutuusa bwe yatuukanga w’ayagala okusoma.
Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Anchor Bible Dictionary, “Omuzingo gwabanga muwanvu ekimala (nga gwa ffuuti nga 33) era nga gusobola okuwandiikibwamu ebigambo ebigya mu kitabo ekitonotono.” Ng’ekyokulabirako, kigambibwa nti Enjiri ya Lukka, yali esobola okuwandiikibwa ku muzingo gwa ffuuti nga 31 obuwanvu. Emizingo egimu baagikomolanga bulungi ku mabbali era ne bagisiiga langi.
Baani abayinza okuba nga be baali “bakabona abakulu” aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani [Endagaano Empya]?
Okuva mu kiseera obwakabona lwe bwatandikibwawo mu Isirayiri, omusajja omu yekka ye yaweerezanga nga kabona asinga obukulu obulamu bwe bwonna. (Okubala 35:25) Alooni ye yasooka okuweereza mu ngeri eyo. Oluvannyuma, omwana ow’obulenzi omukulu ye yasikiranga kitaawe ku bwakabona. (Okuva 29:9) Bazzukulu ba Alooni abasinga obungi baaweerezaako nga bakabona, naye abaaweereza nga bakabona abasinga obukulu baali batono nnyo.
Abayisirayiri bwe baatandika okufugibwa amawanga amalala, abafuzi abataali Bayisirayiri be baalondanga kabona asinga obukulu, era baamuggyanga ku bwabakabona nga baagadde. Kyokka kirabika abasinga obungi ku abo be baalondanga baabanga ba mu lunyiriri lwa Alooni. “Bakabona abakulu” kirabika baabanga basajja abaakuliranga bakabona abalala. Era bayinza okuba nga baabanga bakulembeze b’ebibinja 24 ebya bakabona, abasajja ab’ebitiibwa abaavanga mu maka ga kabona asinga obukulu, oba oyo eyabanga aggiddwa ku bwakabona asinga obukulu, gamba nga Anaasi.—1 Ebyomumirembe 24:1-19; Matayo 2:4; Makko 8:31; Ebikolwa 4:6.