Ebirimu
Jjanwali 2016
© 2016 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
3 Beewaayo Kyeyagalire—Mu Oceania
WIIKI YA FEBWALI 29, 2016–MAAKI 6, 2016
7 “Mweyongere Okwagalana ng’Ab’Oluganda”!
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2016 kye kiruwa? Ekyawandiikibwa ekyo kisaanidde kutujjukiza ki omwaka guno gwonna? Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kyawandiikibwa ky’omwaka ekyo.
WIIKI YA MAAKI 7-13, 2016
12 Kirage nti Osiima ‘Ekirabo kya Katonda Ekitalojjeka’
Yakuwa yatuwa ekirabo Pawulo kye yayita ‘ekirabo kya Katonda ekitalojjeka.’ (2 Kol. 9:15) Ekirabo ekyo kye kiruwa? Kitukubiriza kitya okukoppa Yesu, okwagala bakkiriza bannaffe, n’okusonyiwa abalala? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo era kirage bye tusobola okukola mu kiseera ky’Ekijjukizo.
WIIKI YA MAAKI 14-20, 2016
17 Omwoyo Guwa Obujulirwa n’Omwoyo Gwaffe
WIIKI YA MAAKI 21-27, 2016
Ebitundu bino biraga engeri omuntu gy’amanyaamu nti alondeddwa okuba mu abo abagenda mu ggulu era n’engeri ekyo gye kikwata ku muntu oyo. Era biraga engeri abaafukibwako amafuta gye basaanidde okwetwalamu, n’engeri okweyongera kw’omuwendo gw’abo abalyako gye kwanditukutteko.
WIIKI YA MAAKI 28, 2016–APULI 3, 2016
28 Okukolera Awamu ne Katonda—Kituleetera Essanyu Lingi
Okuva edda n’edda Yakuwa abadde awa abalala akakisa okukolera awamu naye okutuukiriza ekigendererwa kye. Ayagala amawulire amalungi okubuulirwa mu nsi yonna era atuwadde enkizo okwenyigira mu mulimu ogwo. Ekitundu kino kiraga emikisa gye tufuna mu kukolera awamu ne Katonda.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
MADAGASCAR
Payoniya ng’abuulira omusajja ali mu kigaali ekisikibwa ente ku kkubo erimu erisangibwa mu Morondava, Madagascar
ABABUULIZI
29,963
ABAYIZI BA BAYIBULI
77,984
ABAALIWO KU KIJJUKIZO