LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp17 Na. 4 lup. 13
  • Kye Tuyigira ku Nnukuta y’Olwebbulaniya Esinga Obutono

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kye Tuyigira ku Nnukuta y’Olwebbulaniya Esinga Obutono
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 4 lup. 13
Erinnya lya Katonda, ng’ennukuta esingayo obutono mu Lwebbulaniya eri mu langi emmyufu

Erinnya lya Katonda, Yakuwa, nga bwe liwandiikibwa mu Lwebbulaniya. Lisomebwa okuva ku ddyo okudda ku kkono

Kye Tuyigira ku Nnukuta y’Olwebbulaniya Esinga Obutono

Ddala tusobola okuba abakakafu nti ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira? Yesu yali mukakafu ku ekyo, era ebyo bye yayigiriza byanyweza okukkiriza kw’abantu abaamuwulirizanga. Lowooza ku bigambo bye ebiri mu Matayo 5:18. Yagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, eggulu n’ensi ne bwe biggwaawo, ennukuta esinga obutono oba akatundu k’ennukuta ey’omu Mateeka tebiriggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bituukiriziddwa.”

Ennukuta esinga obutono mu walifu y’Olwebbulaniya y’eno י era eyitibwa yod. Ennukuta eyo y’esooka mu linnya lya Katonda Yakuwa,a nga liwandiikiddwa mu Lwebbulaniya. Buli nnukuta mu Mateeka ga Katonda, Abawandiisi n’Abafalisaayo baagitwalanga nga nkulu nnyo.

Yesu yali ategeeza nti kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga ennukuta esingayo obutono mu Mateeka obutatuukirira. Kyokka Ebyawandiikibwa bitukakasa nti eggulu n’ensi bijja kubeerawo emirembe gyonna. (Zabbuli 78:69) Ekyo kiraga nti tewali kintu kyonna ekyawandiikibwa mu Mateeka ekitajja kutuukirira, ka kibe kitono kitya.

Yakuwa Katonda afaayo ne ku bintu ebirabika ng’ebitali bikulu nnyo. Lowooza ku kino: Abayisirayiri ab’edda baagambibwa nti tebaalina kumenya ggumba lyonna ery’omwana gw’endiga ey’Okuyitako. (Okuva 12:46) Ekyo kirabika ng’ekitali kikulu nnyo. Oboolyawo Abayisirayiri tebaategeera nsonga lwaki Katonda yabagamba obutamenya ggumba lyonna. Naye Katonda yali akimanyi nti ekyo ekyali kirabika ng’ekitali kikulu nnyo kyali kisonga ku ekyo ekyandituuse ku Masiya, nti tewali na limu ku magumba ge eryandimenyeddwa ng’akomereddwa ku muti.​—Zabbuli 34:20; Yokaana 19:31-33, 36.

Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 5:18 bituyigiriza nti buli kimu Katonda kye yasuubiza kijja kutuukirira, ka kibe kitono kitya.

a Ennukuta esinga obutono mu walifu y’Oluyonaani eyitibwa iota, era efaananamu n’ennukuta eyitibwa yod (י), ey’Olwebbulaniya. Olw’okuba mu kusooka amateeka Katonda ge yawa Musa gaali gaawandiikibwa mu Lwebbulaniya, kirabika Yesu yali ayogera ku nnukuta ey’Olwebbulaniya.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share