Ebirimu
3 Ebyafaayo—Ŋŋanyuddwa Nnyo mu Kutambula n’Abantu ab’Amagezi
WIIKI YA MAAYI 1-7, 2017
8 Wa Ekitiibwa Abo Be Kigwanira
Abakristaayo balina okuba n’endowooza ennuŋŋamu bwe kituuka ku kussaamu abalala ekitiibwa. Baani be tusaanidde okussaamu ekitiibwa, era lwaki? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo era kirage n’emiganyulo egiri mu kussaamu ekitiibwa abo be kigwanira.
WIIKI YA MAAYI 8-14, 2017
13 Yoleka Okukkiriza—Era Salawo mu Ngeri ey’Amagezi!
Bayibuli eraga nti tulina okwesalirawo. Naye lwaki tulina okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Tusobola okukyusa mu ebyo bye tuba twasalawo? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
WIIKI YA MAAYI 15-21, 2017
18 Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
WIIKI YA MAAYI 22-28, 2017
23 Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
Olw’okuba tetutuukiridde ffenna tukola ensobi. Naye ekyo kitegeeza nti tetusobola kusanyusa Katonda? Mu bitundu bino ebibiri, tujja kulaba bakabaka bana aba Yuda n’ensobi ze baakola, ng’ezimu ku zo zaali za maanyi nnyo. Wadde kyali kityo, Yakuwa yagamba nti bakabaka abo baamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Wadde nga tetutuukiridde, naffe Katonda asobola okukitwala nti tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna?