LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Jjuuni
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Similar Material
  • Yesu Alongoosa Yeekaalu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Addamu Okulongoosa Yeekaalu
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Alongoosa Yeekaalu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Jjuuni
Yesu ng’agoba abasuubuzi abatundira ebintu mu yeekaalu

Obadde Okimanyi?

Kyali kituufu okuyita abasuubuzi abaali batundira ebisolo mu yeekaalu ‘abanyazi’?

ENJIRI ya Matayo egamba nti: “Yesu n’ayingira mu yeekaalu n’agobamu abo bonna abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, era n’avuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente n’entebe z’abo abaali batunda amayiba. N’abagamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti, “Ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu,” naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.’”​—Mat. 21:12, 13.

Ebyafaayo biraga nti abasuubuzi mu yeekaalu babbanga abaguzi nga babatunza ebintu ku buseere. Ng’ekyokulabirako, ekiwandiiko ekimu eky’Abayudaaya ekiyitibwa Mishnah (Keritot 1:7) kigamba nti mu kyasa ekyasooka, waaliwo ekiseera bbeeyi y’enjiibwa ezaaweebwangayo nga ssaddaaka bwe yatuuka ku ddinaali emu eya zzaabu. Omuntu owa bulijjo kyali kimwetaagisa okukolera ennaku 25 okuweza ssente ezo. Abantu abaavu, bakkirizibwanga okuwaayo enjiibwa oba amayiba nga ssaddaaka, naye kati zaali zifuuse za buseere nnyo nga tebakyasobola kuzigula. (Leev. 1:14; 5:7; 12:6-8) Labbi omu ayitibwa Simeon ben Gamaliel, kyamuluma nnyo okulaba ng’abantu banyigirizibwa, bw’atyo n’akendeereza ddala omuwendo gwa ssaddaaka abantu ze baalina okuwaayo ne kiba nti bbeeyi y’amayiba yakka nnyo, amayiba abiri ne gatuuka okugula kimu kya kikumi ekya ddinaali eya zzaabu.

Bw’olowooza ku ebyo byonna okiraba nti Yesu teyali mukyamu kuyita basuubuzi abo ‘abanyazi.’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share