Ebirimu
3 Ebyafaayo—Okukola Yakuwa by’Atugamba Okukola Kivaamu Emikisa
WIIKI YA NOOVEMBA 27, 2017–DDESEMBA 3, 2017
7 ‘Twagalenga mu Bikolwa ne mu Mazima’
Okwagala okwa nnamaddala kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima ku b’obulimba. Ekitundu kino kiraga ebintu mwenda bye tuyinza okukola okulaga okwagala “okutaliimu bukuusa.”—2 Kol. 6:6.
WIIKI YA DDESEMBA 4-10, 2017
12 Amazima Tegaleeta ‘Mirembe Wabula Kitala’
Ab’eŋŋanda zaffe abatali baweereza ba Yakuwa bwe batuyigganya olw’enzikiriza yaffe obulamu tebuba bwangu. Ekitundu kino kiraga ebisobola okutuyamba okwaŋŋanga okuyigganyizibwa okuva mu b’eŋŋanda zaffe.
17 Yusufu ow’e Alimasaya Alaga Oludda kw’Ali
WIIKI YA DDESEMBA 11-17, 2017
21 Okwolesebwa Zekkaliya Kwe Yafuna Kukukwatako Kutya?
WIIKI YA DDESEMBA 18-24, 2017
26 Amagaali n’Engule Bitukuuma
Ebitundu bino byogera ku kwolesebwa okw’omukaaga, okw’omusanvu, n’okw’omunaana Zekkaliya kwe yafuna. Okwolesebwa okw’omukaaga n’okw’omusanvu kutuyamba okusiima enkizo gye tulina ey’okubeera mu kibiina kya Yakuwa ekiyonjo. Okwolesebwa okw’omunaana kulaga nti Yakuwa akuuma abantu be ne basobola okweyongera okumuweereza.