Ebirimu
WIIKI YA DDESEMBA 25-31, 2017
Okuva edda n’edda okuyimba kibadde kitundu kikulu eky’okusinza okw’amazima. Naye abamu batya okuyimba mu lujjudde. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ekyo? Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki tusaanidde okuyimbira Yakuwa n’essanyu, era kirimu amagezi agasobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyimbamu.
WIIKI YA JJANWALI 1-7, 2018
WIIKI YA JJANWALI 8-14, 2018
13 Ba Mwenkanya era Musaasizi nga Yakuwa
Waliwo bye tuyigira ku nteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu eyaliwo mu Isirayiri ey’edda. Ekitundu ekisooka kiraga engeri aboonoonyi gye bayinza okuddukira eri Yakuwa leero. Ekitundu eky’okubiri kiraga engeri gye tuyinza okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku kusonyiwa abalala, ku bulamu, ne ku bwenkanya.
18 “Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”
WIIKI YA JJANWALI 15-21, 2018
WIIKI YA JJANWALI 22-28, 2018
25 Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Mpeera
Ebitundu bino ebibiri byesigamiziddwa ku bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi. Ekitundu ekisooka kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okwewalamu endowooza z’ensi, wadde nga zirabika ng’ezisikiriza. Ekitundu eky’okubiri kiraga engeri gye tuyinza okwewala ebintu ebiyinza okutuviirako okufiirwa empeera Yakuwa gye yatusuubiza.