Ebirimu
WIIKI EYA DDESEMBA 31, 2018–JJANWALI 6, 2019
3 ‘Gula Amazima era Togatundanga’
WIIKI EYA JJANWALI 7-13, 2019
8 “Nja Kutambulira mu Mazima Go”
Ebitundu bino ebibiri bituyamba okukiraba nti amazima agava eri Yakuwa ga muwendo nnyo. Amazima ago gasingira wala ekintu kyonna kye tuyinza okwefiiriza okugafuna. Ebitundu bino era biraga ebyo bye tuyinza okukola okwewala okutunda amazima ag’omuwendo Yakuwa g’atuyigirizza.
WIIKI EYA JJANWALI 14-20, 2019
13 Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!
Ekitabo kya Kaabakuuku kiraga engeri gye tuyinza okusigala nga twesiga Yakuwa ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Era kiraga nti ka tube nga tulina bizibu ki, bwe twesiga Yakuwa, ajja kutununula.
WIIKI EYA JJANWALI 21-27, 2019
WIIKI EYA JJANWALI 28, 2019–FEBWALI 3, 2019
23 Ofuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Yakuwa?
Bwe tugenda tukula mu by’omwoyo tweyongera okukiraba nti endowooza ya Yakuwa esingira wala ey’ensi. Ebitundu bino ebibiri biraga engeri gye tuyinza okwewalamu okutwalirizibwa endowooza y’ensi n’engeri gye tuyinza okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa.