LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w18 Noovemba lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Similar Material
  • Bakabaka Babiri Abalina Akanyoolagano
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • “Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
w18 Noovemba lup. 31

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Abayambi Yesu be yayogerako bwe yali anaatera okuttibwa be baani, era lwaki baali bayitibwa batyo?

Omuyambi mu kiseera ky’edda

Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yagamba abatume be obuteenoonyeza bitiibwa mu bakkiriza bannaabwe. Yabagamba nti: “Bakabaka b’amawanga bakajjala ku bantu, n’abo abalina obuyinza ku mawanga bayitibwa Bayambi. Kyokka tekirina kuba bwe kityo mu mmwe.”​—Luk. 22:25, 26.

Abayambi Yesu be yayogerako be baani? Ebigambo ebyayolebwa ku bintu eby’edda, ku binusu, n’ebiwandiiko eby’edda biraga nti yali nkola y’Abayonaani n’Abaruumi okuwa abantu abatutumufu n’abafuzi ekitiibwa nga babayita Euergetes, oba Abayambi. Abantu abo baaweebwanga ekitiibwa ekyo olw’okuba baabanga baliko ekintu ekiganyula abalala kye baabanga bakoze.

Waliwo bakabaka bangi abaaweebwa ekitiibwa ekyo. Mu bano mwe mwali abafuzi ba Misiri Ptolemy III Euergetes (a. 247-222 E.E.T.) ne Ptolemy VIII Euergetes II (a. 147-117 E.E.T.). Abafuzi ba Rooma Kayisaali Yuliyo (48-44 E.E.T.) ne Agusito (31 E.E.T.–14 E.E.) awamu ne Kerode Omukulu, kabaka wa Buyudaaya, nabo baaweebwa ekitiibwa ekyo. Kerode ayinza okuba nga yaweebwa ekitiibwa ekyo oluvannyuma lw’okuleeta mu Buyudaaya eŋŋaano okutaasa abantu be enjala n’okuwa abantu abaali mu bwetaavu engoye.

Omwekenneenya wa Bayibuli Omugirimaani ayitibwa Adolf Deissmann, yalaga nti ekitiibwa Abayambi kyali kikozesebwa nnyo. Yagamba nti: ‘Bw’oba oyagala okunoonya ebintu eby’edda ebiwandiikiddwako ekitiibwa ekyo osobola okuzuula ebintu kikumi mu kaseera katono.’

Kati olwo Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba abayigirizwa be nti: “Tekirina kuba bwe kityo mu mmwe”? Yali agamba abayigirizwa be obutafaayo ku mbeera y’abantu abaali babeetoolodde? Nedda. Yesu kye yali tawagira bye bigendererwa abantu abo bye baalina nga bagaba.

Mu kiseera kya Yesu abantu abagagga baayagalanga okwekolera erinnya eddungi nga bategeka ebivvulu n’emizannyo oba ebintu ebirala ng’ebyo mu bifo ebya lukale, mu paaka, ne mu masinzizo. Naye ebintu ebyo baabikolanga olw’okwagala okutenderezebwa abantu, okufuna ettutumu, oba okulondebwa okuba abafuzi. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Wadde ng’abamu ku bantu abo abaakolanga ebintu ebirungi baabikolanga olw’okwagala okuyamba abalala mu bwesimbu, abasinga obungi baabikolanga olw’okwagala okwefunira ebifo mu gavumenti.” Yesu yali akubiriza abagoberezi be okwewala omwoyo ogw’okwagala obukulu n’okwerowoozaako.

Nga wayise emyaka, omutume Pawulo naye yalaga obukulu bw’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kugaba. Yawandiikira Bakristaayo banne ab’omu Kkolinso n’abagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Kol. 9:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share