Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Obutabo bwa Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Beera ne brocuwa Atwetaagisa okugabira abo abaagala okuyiga naffe, era fuba okutandika okubayigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? Teeka essira ku kufuna b’oyigiriza Baibuli abappya. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Emyoyo gy’Abafu—Gisobola Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, ne Will There Ever Be a World Without War? ziyinza okugabibwa we kisaanira. Era n’obutabo Emyoyo Egitalabika ne Ebigambo Bino Ebirungi eby’Obwakabaka buyinza okukozesebwa mu myezi gino.
◼ Tukizudde nga kyetaagisa okujjukiza ababuulizi bonna nti endagiriro ya Sosayate tesaanidde kuteekebwa ku mabaluwa g’omuntu kinnoomu. Kino kitwaliramu amabaluwa gonna era n’ebitabo bye tuweereza nga tubuulira abantu abaagala okuyiga naffe, be tutasanze waka, oba abali mu bifo ebitasobola kutuukibwamu. Bw’obaako gw’obuulira okuyitira mu bbaluwa, muwe endagiriro yo oba eya Kingdom Hall ey’omu kitundu kyo. Toteekako ndagiriro ya Sosayate.
◼ Tulina kaseti nnyingi ez’omuzannyo Doing God’s Will With Zeal mu Lungereza. Ebibiina bikubirizibwa okulagiriza kaseti eno ababuulizi basobole okuganyulwa mu kuwuliriza omuzannyo guno.
◼ Enkuŋŋaana ssatu eza district eziri mu bufunze zitegekeddwa okubaawo mu Tanzania omwaka guno nga bwe kiragiddwa wammanga:
Sumbawanga Agusito 5-6, 2000
Songea Agusito 26-27, 2000
Kigoma Agusito 26-27, 2000