Wa Obujulirwa nga Muliraanwa Omulungi
1 Yesu yagamba “yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Mat. 22:39) Awatali kubuusabuusa, bakkiriza banno ‘obakolera ebirungi’, naye oyinza okulaga baliraanwa bo okwagala ng’okwo? (Bag. 6:10) Mu ngeri ki?
2 Nga Weeyanjula: Baliraanwa bo bakimanyi nti oli Mujulirwa? Bwe kitaba bwe kityo, lwaki tobakyalira ng’oli mu buweereza bw’ennimiro? Ebivaamu biyinza okukwewuunyisa! Oba bwe kiba nga kinaakubeerera kyangu okusingawo, gezaako okubabuulira embagirawo. Oyinza okubalaba nga bakola mu emirimu mu maka gaabwe oba nga batambulatambulamu mu kkubo. Batuukirire ng’oliko akamwenyumwenyu. Gezaako okwogera ku nzikkiriza yo, Ekizimbe ky’Obwakabaka gye kiri n’ebikolebwayo, era bategeeze omuntu omulala yenna ow’okumuliraano agenda yo. Bayite bajje mu nkuŋŋaana. Beera mumalirivu okuwa buli muntu gw’omanyi obujulirwa obukwata ku mawulire amalungi mu bujjuvu.—Bik. 10:42; 28:23.
3 N’Empisa Zo Ennungi: Empisa zo ezooleka omukwano zikwogerako bingi nnyo era ziyinza okukuggulirawo ekkubo ly’okuwa obujulirwa. Era ‘ziyonja enjigiriza ya Katonda.’ (Tito 2:7, 10) Faayo ku baliraanwa bo. Yoleka omukwano n’okutegeera. Ssa ekitiibwa mu bwannanyini bwe balina okubeera bokka awatali kutawaanyizibwa. Singa omu ku bo alwala, laga okufaayo era weeweeyo okuyamba. Bwe wabaawo amaka amappya agakasenga ku muliraano, genda yo obaanirize. Ebikolwa ng’ebyo eby’ekisa birina ekirungi kye bikola era bisanyusa Yakuwa.—Beb. 13:16.
4 N’Endabika y’Ebintu Byo: Okubeera muliraanwa omulungi kitwaliramu okufaayo ku maka go gasobole okulabika obulungi. Amaka n’oluggya oluyonjo era ebisikiriza nabyo biwa obujulirwa. Naye amaka amajama oba agalimu ebintu ebimaze gasuulibwasuulibwa buli wamu gayinza okuleetera omuntu obutawuliriza bubaka bw’Obwakabaka. Bwe kityo, kikulu nnyo okukuuma amaka go, oluggya, n’emmotoka yo nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi.
5 Okufaayo ku abo abali ebweru w’ekibiina Ekristaayo kyoleka okwagala eri baliraanwa bo. Kiki ekiyinza okuvaamu? Kiyinza okuba nti ‘olw’ebikolwa byo ebirungi bye balaba,’ abamu ku bo ‘bajja kugulumiza Katonda.’—1 Peet. 2:12.