Yamba Abalala Okufuuka Mikwano gya Katonda
Twasanyuka nnyo bwe twafuna brocuwa empya, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda! Watchtower aka Jjanwali 15, 2001 ku lupapula 25 kaagyogerako bwe kati: “Mu nsi nnyingi, waliyo obwetaavu bwa maanyi obw’okuyigiriza abantu Baibuli mu ngeri ennyangu, era brocuwa eno ejja kukola ku bwetaavu obwo. Ejja kuganyula nnyo abantu abataafuna buyigirize bumala oba abalina obuzibu mu kusoma.” Tuyinza tutya okugikozesa okuyamba abantu abalinga abo okufuuka mikwano gya Katonda?—Yak. 2:23.
Abo abatasobola kusoma naye nga baagala okuyiga Baibuli, tubadde tubayamba nga tukozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu erimu ebifaananyi ebingi ebisikiriza. Oluvannyuma lw’okusoma brocuwa eno, kyandibadde kirungi okusoma nabo brocuwa Mukwano gwa Katonda ate oluvannyuma ne Atwetaagisa. Era kyandibadde kirungi okuyamba abantu abo okuyiga okusoma n’okuwandiika ng’okozesa akatabo Apply Yourself to Reading and Writing. Oluvannyuma lwa byonna, oyinza okuyiga n’abantu abo ng’okozesa akatabo Okumanya okubayamba okweteekateeka okutuuka ku ddaala ery’okwewaayo n’okubatizibwa.
Kya lwatu, era oyinza okugabira omuntu brocuwa Mukwano gwa Katonda lw’osoose okwogera naye era n’ogikozesa okutandika okusoma naye Baibuli. Ng’oggyeko Olungereza n’Oluswayiri, brocuwa eno era eri ne mu nnimi endala nga Oluganda, Olukamba, Olukikuyu, Olukyoli, n’Olulundi.
Abazadde, mukozesezza brocuwa Mukwano gwa Katonda okuyiga n’abaana bammwe? Ejja kubayamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yigiriza abaana bo okufaayo ku nneewulira ya Katonda. Bw’oba ng’osoma n’abaana bo era n’abantu abalala abaagala amazima, balage engeri gy’osiimamu ennyo Yakuwa n’ebyo by’akoze. (Zab. 103:2) Mu ngeri eyo, nabo tujja kuba tubayamba okufuuka mikwano gya Katonda.