Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oddayo n’osanga ng’ayagala okusoma endala, muteeke ku lukalala lw’abo b’otwalira magazini. Mugabe brocuwa Atwetaagisa, n’ekigendererwa eky’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Brocuwa Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda! oba akatabo United in Worship of the Only True God bisobola okugabibwa. Abantu bwe baba ng’ebyo babirina, bawe brocuwa yonna etuukirawo eri mu kibiina. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, Kiki Ekibaawo Bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo Gy’Abafu—Giyinza Okutuyamba oba Okutulumya? Ddala gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?, ziyinza okugabibwa we kisaana. Obutabo God’s Way Is Love, Is There A God Who Cares ne Emyoyo Egitalabika—Gisobola Okutuyamba? Oba Gitulumya? nabwo buyinza okugabibwa.
◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala yenna gw’aba alonze, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kino kimaze okukolebwa, kisaanidde kirangibwe eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Abayizi b’omu Ssomero Eritendeka Abaweereza ery’omulundi ogw’ekkumi n’ogumu eryali mu Kenya, baamaliriza emisomo gyabwe nga Noovemba 4, 2001. Essomero lino likyeyongera okutendeka ab’oluganda abaagala okukola ekisingawo mu mulimu gw’amakungula. (Mat. 9:36, 37) Abakadde n’abaweereza abali obwannamunigina, nga bali wakati w’emyaka 23-50, nga bamanyi Olungereza oba Olufalansa era nga baagala okugenda mu ssomero eryo, bayinza okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okugenda mu ssomero eryo olunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olunaddako.
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli (Akatono)—Lukyayina, n’Olukyayina (Olugonzeddwamu)
New World Translation of the Holy Scriptures (Akatono; akalina eddiba eriddugavu oba erimyufu)—Lukyayina
◼ Ebitabo bya Bamuzibe Ebippya Ebiriwo:
Benefit From Theocratic Ministry School Education (emizingo ena)—Lungereza
Mwetegereze: Ebitabo bya bamuzibe birina okusabibwa okuyitira mu kibiina. Nga musaba ebitabo bya bamuzibe, mujjuze foomu ey’enjawulo esabirwako ebitabo (S-14), era muwandiikeko erinnya n’endagiriro ya muzibe agenda okusoma ebitabo ebyo. Musabibwa okuteekako ebigambo ATTENTION: BRAILLE DESK.