LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/02 lup. 7
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 12/02 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo by’okugaba mu Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Oba oyinza okugaba Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, The Bible​—God’s Word or Man’s?, oba Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali: Ekitabo kyonna eky’empapula 192 ekyakubibwa ng’omwaka 1988 tegunnatuuka ekiri mu kibiina. Ebibiina ebitalina bitabo ebyo ebikadde biyinza okugaba Mankind’s Search for God. Febwali: Ekitabo Draw Close to Jehovah kye kijja okugabibwa. Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Wajja kubeerawo okufuba okw’enjawulo okufuna abayizi ba Baibuli.

◼ Obupapula obuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo ky’omwaka 2003 obuli mu lulimi olukozesebwa mu buli kibiina bujja kuweerezebwa. Bwe kiba nti ennimi endala zoogerwa mu kitundu kyammwe era nga mwandyagadde okufuna obupapula obwo mu nnimi ezo, bulina okulagirizibwa amangu ddala ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Obupapula obuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo bujja kufunibwa mu Lufalansa, Luganda, Lugujarati, Lukyayina (Olugonzeddwamu), Lungereza, Lulundi, Luswayiri n’Oluwalabbu. Musabibwa okulagiriza obwo bwokka obuli mu nnimi ezikozesebwa mu kitundu kyammwe.

◼ Musabibwa okwetegereza nti Ekijjukizo ky’omwaka 2004 kijja kubeerawo ku Ssande, Apuli 4, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezebwa nga bukyali ab’oluganda basobole okukola entegeka ezeetaagisa ez’okufuna ebifo eby’okukuŋŋaaniramu bwe kiba nti ebibiina ebiwerako byeyambisa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu ng’era kyetaagisa okufunayo ebifo ebirala. Abakadde balina okukola endagaano ne bannannyini bifo ebyo okukakasa nti tewajja kubaawo kutaataaganyizibwa kwonna mu kizimbe ekyo omukolo gw’Ekijjukizo gusobole okugenda obulungi. Olw’obukulu bw’omukolo guno, akakiiko k’abakadde bwe kaba kalonda omwogezi ku Kijjukizo, kandironzeeyo omu ku bakadde alina ebisaanyizo ebisingako mu kifo ky’okukikola obukozi mu mpalo oba okukozesa ow’oluganda omu buli mwaka. Bwe wabaawo omukadde eyafukibwako amafuta asobola okuwa okwogera okwo, ayinza okulondebwa.

◼ Ababuulizi ababatize bonna abanaabeerawo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki eya Jjanwali 6 bayinza okufuna Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa ne Kaadi ey’okuweebwa abaana baabwe.

◼ Enkyukakyuka zikoleddwa ku ngeri Essomero ly’Omulimu gwa Katonda gye lijja okukubirizibwangamu mu kiseera eky’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu. Okutandika ne Jjanwali 2003, oluvannyuma lw’oluyimba n’okusaba okuggulawo, essomero lijja kukubirizibwa okumala ekiseera kya ddakiika nga 25. Wajja kubaawo okwogera kwa ddakiika 5 ku nsonga ey’okwogerako, emboozi esooka nga ya ddakiika kkumi n’ebikulu ebibadde mu kusoma Baibuli okumala eddakiika kkumi. Emboozi 2, 3, ne 4 tezijja kubaawo. Oluvannyuma lw’essomero, wajja kubaawo Olukuŋŋaana lw’Obuweereza nga lwa ddakiika 30. Oluvannyuma lw’okuyimba, okwogera kw’omulabirizi w’ekitundu kwe kujja okuddako nga kwa ddakiika 30 n’oluvannyuma enkuŋŋaana zikomekkerezebwe n’oluyimba n’okusaba.

◼ Wadde ng’emabega omulabirizi akubiriza Essomero ly’Obuweereza abadde atereka mu fayiro kopi z’obupapula kw’awabulira abayizi, kino tekikyetaagisa kubanga obupapula obwo obuwabulirwako buli mu kitabo mwennyini. Bwe kityo, buli mulabirizi akubiriza essomero kijja kumwetaagisa okufunayo enkola eyiye ku bubwe eneemusobozesa okujjukiranga buli muyizi w’atuuse mu kukulaakulana kwe. Sosayate tejja kuweerezaayo lupapula lulala lwonna lwa njawulo.

◼ Emboozi 3 ne 4 mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda zijja kwesigamizibwa ku katabo Reasoning. Ng’obala obutundu awaggibwa emboozi, tobaliramu mitwe emitono n’ebigambo ebinnyonnyola emitwe emikulu.

◼ Okubala ebitabo byonna ne magazini eziri mu kibiina kusaanidde okukolebwa nga Ddesemba 31, 2002, oba amangu ddala nga lunaatera okutuuka. Okubala kuno kufaanagana n’okwo, omutabaganya ku nsonga ezikwata ku bitabo kw’akola buli mwezi, era omuwendo gwabyo gusaanidde okuteekebwa ku foomu eyitibwa Literature Inventory (S-18). Omuwendo gwa magazini zonna eziri mu kibiina guyinza okufunibwa okuva eri abaweereza abakola ku magazini mu buli kibiina. Buli kibiina ekitabaganya kijja kufuna foomu ezo ssatu. Musabibwa okuweereza kopi emu ku ofiisi obutasukka Jjanwali nga 6. Kopi ey’okubiri mugiteeke mu fayiro zammwe. Kopi ey’okusatu muyinza okugikozesa nga mubala. Omuwandiisi mu kibiina ekitabaganya asaanidde okubeerawo ng’okubala okwo kukolebwa. Omuwandiisi n’akubiriza akakiiko k’abakadde mu kibiina ekitabaganya basaanidde okussaako emikono ku foomu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share