LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/03 lup. 7
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 1/03 lup. 7

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Ddi bwe kiba kisaanira okutandikawo ekibinja eky’olulimi olugwira?

Bwe kiba nti ekitundu ekibuulirwamu ekibiina kirimu abantu abawerako aboogera olulimi olugwira, abakadde basaanidde okukola entegeka ez’okubuulira mu lulimi olwo. (km 2/98 emp. 3-4) Kiyinza okuba nti abantu aboogera olulimi olugwira babunye mu bitundu ebibuulirwamu ebibiina bibiri oba n’okusingawo eby’omuliraano. Mu mbeera ng’eyo, omulabirizi w’ekitundu ajja kuwa obulagirizi obwetaagisa okuyamba ebibiina ebikwatibwako okukolagana mu mulimu gw’okubuulira. Oluusi n’oluusi emboozi ya bonna oba Omunaala gw’Omukuumi biyinza okutegekebwa okulaba obanga aboogera olulimi olugwira banaabijumbira.

Ekibinja ky’olulimi olugwira kiyinza okutandikibwawo singa ebisaanyizo bino wamanga bituukirizibwa: (1) Nga waliwo ababuulizi oba abaagala okuyiga naffe abategeera obulungi amawulire amalungi mu lulimi olugwira. (2) Nga waliwo omukadde oba omuweereza ayinza okukulembera n’okukubiriza olukuŋŋaana waakiri omulundi gumu mu wiiki. (3) Nga akakiiko k’abakadde keetegefu okuyamba ekibinja kino. Singa ebisaanyizo bino bituukirizibwa, abakadde bajja kutegeeza ofiisi y’ettabi kisobole okutongozebwa era kiweebwe n’obulagirizi.

Ebibinja ebisinga obungi bitandikibwawo nga bisooka kufuna Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo buli wiiki. Nga wayiseewo ekiseera, abakadde bayinza okusemba okutandikawo enkuŋŋaana endala, gamba ng’olukuŋŋaana lwa bonna n’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Emboozi 2, 3, ne 4 mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda ziyinza okuweebwa mu kisenge ekirala singa wabaawo omukadde oba omuweereza amanyi obulungi olulimi olwo, ayinza okukola nga omuwabuzi. Kyokka, ekibinja kino kijja kwegatta ku kibiina okuwuliriza ensonga ey’okwogerako, emboozi esooka, n’ebikulu ebibadde mu kusoma kwa Baibuli n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro ziyinza okutegekebwa mu kibinja ekyo.

Bonna abali mu kibinja bakolera wamu wansi w’obulagirizi bw’akakiiko k’abakadde. Abakadde balina okuwa obulagirizi era n’okufaayo ennyo ku byetaago by’ekibinja kino. Omulabirizi w’ekitundu bw’akyalira ekibiina ekivunaanyizibwa ku kibinja ekyo, ajja kukola entegeka okugenda mu buweereza bw’ennimiro n’abakirimu asobole okubazimba mu by’omwoyo. N’emikisa gya Yakuwa ekibinja ky’olulimi olugwira kiyinza okufuuka ekibiina.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share