Tuyinza Tutya Okuyamba Omu ku Bafumbo Atali Mujulirwa?
1 Abaweereza ba Yakuwa bangi balina bannaabwe mu bufumbo abaagala ab’oluganda era abasiima ekibiina kyokka nga bo tebaagala kubeegattako okuweereza Katonda. Omwami omu yagamba bw’ati: “Bwe nnakirowoozaako nti nnalina okubuulira nnyumba ku nnyumba, muli nnawulira nga sikisobola.” Abalala bayinza okuba n’emize egikontana n’Ebyawandiikibwa gye balina okuvvuunuka, oba bayinza okulowooza nti tebasobola kunywerera ku nteekateeka ey’Ekikristaayo munnaabwe mu bufumbo gy’agoberera. Tuyinza tutya okubayamba?
2 Bafeeko Kinoomu: Okufaayo ku balala era n’okumanya ebibeeraliikiriza kiyinza okubatemera oluwenda okuwuliriza amazima ga Baibuli. (Baf. 2:4) Abo mu kusooka abataali mu ddiini ya bannaabwe mu bufumbo emirundi mingi boogera ku ngeri ab’oluganda gye baabafaako. “José, omukadde mu kibiina, yanfaako mu ngeri ey’enjawulo,” bw’atyo omwami eyayogeddwako waggulu bw’agamba. “Kirabika engeri gye yanfaako ye yansikiriza okutandika okuyiga Baibuli n’obunyiikivu.” Omwami omulala ajjukira nti ab’oluganda abaamukyaliranga baafubanga okunyumya ku bintu ebimukwatako. “Nnatandika okutunuulira eddiini ya [mukyala wange] mu ngeri endala,” bw’atyo bwagamba. “Mikwano gya mukyala wange baali bantu bagezi nnyo abasobola okwogera ku bintu ebitali bimu.”—1 Kol. 9:20-23.
3 Bayambe: Omu ku bafumbo atali Mujulirwa ayinza okukwatibwako ennyo singa alagibwa ebikolwa eby’ekisa. (Nge. 3:27; Bag. 6:10) Emmotoka y’omwami omu atali Mujulirwa bwe yayonooneka, omuvubuka Omujulirwa yamuyamba. “Ekyo kyansanyusa nnyo,” bw’atyo bw’agamba. Ow’oluganda omulala yamala olunaku lulamba ng’ayamba bba wa mwannyinaffe okusiba sseŋŋenge ku puloti y’ennyumba yaabwe. Bwe baali nga bakolera wamu era nga bwe banyumya, baafuuka ba mukwano. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, omusajja ono yatuukirira ow’oluganda oyo n’amugamba nti: “Kati kye kiseera nkole enkyukakyuka mu bulamu bwange. Oyinza okunjigiriza Baibuli?” Yakulaakulana mangu era kati Mujulirwa omubatize.
4 Nga tunoonya abo abasaanira mu kitundu kyaffe, ka tweyongere okuyamba abatali Bajulirwa abaawasa oba abaafumbirwa abo kati abaafuuka bakkiriza bannaffe.—1 Tim. 2:1-4.