Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tuyinza tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutuweebwa mu kibiina?
Ekibiina ky’abantu ba Yakuwa kirina enteekateeka ennungi olw’okuba bakolaganira wamu. (1 Kol. 14:33, 40) Lowooza ku ebyo ebikolebwa mu lukuŋŋaana lumu bwe luti. Ng’oggyeko ebibeera ku programu, waliwo ebirala bingi ebikolebwa ab’oluganda ng’olukuŋŋaana terunnatandika oba nga luwedde. Waliwo n’emirimu emirala emikulu egikolebwa egitalabibwa balala. Buli omu ku ffe ayinza atya okuwagira enteekateeka eziba zikoleddwa?
Beera mwetegefu okuweereza. Abo abeetegefu okuweereza bajja kuba na bingi eby’okukola. (Zab. 110:3) Faayo ku balwadde ne bannamukadde. Yambako mu kulongoosa Ekizimbe eky’Obwakabaka. Tusobola okukola ebintu bingi ebiganyula wadde nga tetusabiddwa kubikola. Ekyetaagisa kwe kubeera nga twagala okuyamba.
Weereza n’obwetoowaze. Abantu abeetoowaze baba basanyufu okuweereza abalala. (Luk. 9:48) Bwe tuba abeetoowaze tetujja kukkiriza buvunaanyizibwa bwe tutasobola kutuukiriza. Ate era, obwetoowaze bujja kutuyamba obutasukka buyinza bwaffe.—Nge. 11:2.
Beera w’amazima. Musa yakubirizibwa okulonda “abasajja ab’amazima” abateeke mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu Isiraeri ey’edda. (Kuv. 18:21) Ne leero kyetaagisa okubeera ow’amazima. Fuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bukuweereddwa. (Luk. 16:10) Bw’oba nga toosobole kutuukiriza buvunaanyizibwa bukuweereddwa, laba nti okola enteekateeka omuntu omulala abutuukirize.
Kola ekyo ekisingayo obulungi. Abakristaayo bakubirizibwa okukola n’omutima gwabwe gwonna ne bwe baba bakola emirimu egya bulijjo. (Bak. 3:22-24) Bwe kituuka ku mirimu egikwata ku kusinza okw’amazima kyetaagisa nnyo n’okusingawo okukola n’omutima gwaffe gwonna. Omulimu ogutuweereddwa ne bwe gulabika ng’ogutali mukulu, ekibiina kiganyulwa bwe gukolebwa obulungi.
Obuvunaanyizibwa bwonna obutuweebwa butuwa akakisa okwoleka okwagala kwaffe eri Yakuwa ne baganda baffe. (Mat. 22:37-39) Ka tufube okubutuukiriza.