LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/04 lup. 7
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 12/04 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba: Mugabe ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba ebitabo ebirala nga The Bible​—God’s Word or Man’s, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ne Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali 2005: Tuyinza okugaba akatabo konna akamyukiridde akalina empapula 192 oba akalala konna akaakubibwa ng’omwaka 1990 tegunnatuuka, awamu ne New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri. Ebibiina ebitalina bitabo bino ebikadde biyinza okugaba Mankind’s Search for God. Febwali 2005: Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ke kajja okugabibwa. Maaki 2005: Gaba brocuwa Beera Bulindaala! Singa abantu baagala okumanya ebisingawo balage akatabo Okumanya era gezaako okutandika okubayigiriza Baibuli.

◼ Ebitundu ebirina omutwe “Understanding Your Doctor” ebiri mu Awake! aka Jjanwali 22, 2005, bitegekeddwa okuyamba abantu okukolagana obulungi n’abasawo baabwe. Kyokka, ebitundu ebyo bijja kunyumira n’abasawo bennyini, okuva bwe byogera ku nsonga lwaki abasawo abamu basikiriziddwa eri obubaka obuli mu Baibuli obuwa essuubi. Oyinza okulagiriza magazini ezisinga ku ezo z’ofuna bulijjo osobole okuwaako omusawo wo n’abasawo abalala. Singa ebibiina byagala okwongera ku muwendo gwa magazini eno birina okutegeerezaawo ofiisi y’ettabi.

◼ Obupapula obuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo ky’omwaka 2005 obuli mu lulimi olukozesebwa mu buli kibiina bujja kuweerezebwa. Bwe kiba nti waliwo ennimi endala ezoogerwa mu kitundu kyammwe era nga mwandyagadde okufuna obupapula obwo mu nnimi ezo, bulina okulagirizibwa amangu ddala ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Mu kitundu kyaffe obupapula obuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo bujja kubaawo mu Luganda, Lulundi, Lungereza, Luwalabu, n’Oluswayiri. Musabibwa okulagiriza obwo bwokka obuli mu nnimi ezikozesebwa mu kitundu kyammwe.

◼ Musabibwa okwetegereza nti Ekijjukizo ky’omwaka 2006 kijja kubeerawo ku Lwakusatu, Apuli 12, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezebwa nga bukyali ab’oluganda basobole okukola entegeka ezeetaagisa ez’okufuna ebifo eby’okukuŋŋaaniramu bwe kiba nti ebibiina ebiwerako byeyambisa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu ng’era kyetaagisa okufunayo ebifo ebirala. Abakadde balina okukola endagaano ne bannannyini bifo ebyo okukakasa nti tewajja kubaawo kutaataaganyizibwa kwonna mu kizimbe ekyo, omukolo gw’Ekijjukizo gusobole okugenda obulungi.

◼ Olw’obukulu bw’omukolo guno, akakiiko k’abakadde, kandironzeeyo omu ku bakadde alina obumanyirivu obusingako awe emboozi ku Kijjukizo mu kifo ky’okuziwanga mu mpalo oba okukozesa ow’oluganda y’omu buli mwaka. Bwe wabaawo omukadde eyafukibwako amafuta asobola okuwa emboozi eyo, ayinza okulondebwa.

◼ Okutandika ne wiiki eya Jjuuni 27, 2005, tujja kusoma akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share