LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/05 lup. 7
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 8/05 lup. 7

Ebirango

◼ Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki? ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World With out War? Akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo nako kasobola okugabibwa naddala mu bitundu ebyesudde. Ssebutemba: Obutabo Is There a Creator Who Cares About You?, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, brocuwa Beera Bulindaala!, oba obutabo obulala obukadde obuli mu kibiina buyinza okugabibwa. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! omwezi gwonna. Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, muwe brocuwa Atwetaagisa, era okole enteekateeka okutandika okumuyigiriza Baibuli. Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Naye abo abagamba nti tebalina baana, tujja kubawa akatabo Okumanya oba tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?

◼ Okuva omwezi gwa Okitobba bwe gulina wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okukola nga payoniya omuwagizi omwezi ogwo.

◼ Olupapula 5 ne 6 ez’Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno zirina okuterekebwa tusobole okuzikozesa nga tukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebijja okuba mu lukuŋŋaana lw’ekitundu n’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu ez’omwaka gw’obuweereza 2006.

◼ Akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu yenna gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ssebutemba 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe waba nga waliwo ensawo endala gamba ng’ekwata ku kulabirira ekizimbe oba okuzimba, enteekateeka zirina okukolebwa nayo yeekenneenyezebwe. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.

◼ Mujjukizibwa nti omuntu yenna tasaanidde kukozesa nnamba ya kasanduuko ka poosita eya ofiisi y’ettabi ku bbaluwa ezize ku bubwe. Kino kizingiramu ebbaluwa zonna n’ebitabo ebiweerezebwa abantu abaagala okumanya ebisingawo, be tutaasanga waka oba ababeera mu bifo ebizibu okutuukamu. Omubuulizi ayinza okukozesa ennamba y’akasanduuko eyiye ku bubwe, okuva bwe kiri nti aba atuukiriza obuweereza bwe ku bubwe eri Katonda. (Mat. 28:19, 20; Bar. 10:14, 15) Kyokka, singa awulira nti si ky’amagezi okukozesa ennamba y’akasanduuko eyiye ku bubwe ng’awa obujulirwa okuyitira mu bbaluwa, ayinza okukozesa erinnya lye n’ennamba y’akasanduuko ey’Ekizimbe ky’Obwakabaka.​—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 2002.

◼ Ebibiina bisaanidde okutandika okulagiriza Kalenda ez’omwaka 2006, akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku​—2006, ne 2006 Yearbook of Jehovah’s Witnesses. Olukalala oluliko ennimi ebintu bino mwe biri, lujja kuweerezebwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share