Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Brocuwa yonna ey’empapula 32 ku zino wammanga eyinza okugabibwa: Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebirala ebibuulirwamu, brocuwa zino wammanga ziyinza okuba nga zituukirawo: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them? n’ako akayitibwa Will There Ever Be a World Without War? Ssebutemba: Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? ke kajja okukozesebwa. Tusaanide okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. Bwe kiba nti akatabo ako abantu bakalina, bannyonnyole engeri gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze ngeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Abantu bwe baba nga baagala okumanya ebisingawo, bawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era mukakubaganyeeko ebirowoozo ng’olina ekigendererwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Akatabo Okumanya nako kayinza okugabibwa.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Ssebutemba gulimu wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Okutandika ne Ssebutemba, abalabirizi b’ekitundu bajja kuwa okwogera kwa bonna okulina omutwe “Kiki Ekiraga nti Baibuli Ntuufu?”
◼ Kyandibadde kirungi okuwaayo ku ofiisi y’ettabi okusaba kw’abo abaagala okuweereza nga ba payoniya aba bulijjo ng’ebulayo ennaku ezitakka wansi wa 30 olunaku lwe baagala okutandikirako lutuuke. Omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okwetegereza foomu okukakasa nti zijjuziddwa bulungi. Bwe kiba nti oyo aba asaba okukola nga payoniya owa bulijjo tasobola kujjukira lunaku lwe yabatirizibwako, asobola okuluteebereza era n’abaako w’aluwandiika. Omuwandiisi alina okuwandiika olunaku luno ku kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record (S-21).