Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abantu bwe bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Beera Bulindaala! Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okugaba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Jjanwali: Tujja kugaba akatabo konna ak’empapula 192 akalina empapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Ebibiina ebitalina butabo obwo biyinza okugaba akatabo Okumanya oba brocuwa Beera Bulindaala! Febwali: Tujja kugaba obutabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka oba Okumanya.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Ddesemba gulimu wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Waliwo ebitabo bingi ebyesigamiziddwa ku Baibuli bye tusobola okukozesa okuwa obujulirwa eri abantu ab’obuwangwa n’enzikiriza ezitali zimu. Omuweereza akola ku bitabo alina olukalala okuli ebitabo ebyo.
◼ Ceeke eziba ziweereddwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era n’ezo eziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi, zirina okuweebwayo mu linnya lya “International Bible Students Association.”
◼ Bwe kiba nti waliwo ababuulizi abatannajjuzaamu kaadi eyitibwa durable power of attorney (DPA) oba eyo eyitibwa AMD, bakubirizibwa okukikola. Kaadi eno eyitibwa DPA ekuyamba obutateekebwamu musaayi. Abakadde bajja kuwa ababuulizi ng’abo obuyambi obwetaagisa.—Laba olupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006.
◼ Ababuulizi tekikyabeetaagisa kujjuzaamu foomu eyitibwa Study Report (S-3) nga balaga abayizi be baba bayigirizza omwezi ogwo. Wadde kiri kityo, kikyabeetaagisa okulaga omuwendo gw’abo be bayigiriza Baibuli ku foomu eyitibwa Field Service Report (S-4). Okutandika n’omwezi guno, foomu eyitibwa S-3 ejja kuba ng’ewandiikibwako omuwendo gw’abo ababaawo mu nkuŋŋaana so si bayizi ba Baibuli.