LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/08 lup. 10
  • Ekiraga nti Tulina Okukkiriza Okunywevu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekiraga nti Tulina Okukkiriza Okunywevu!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Okuzikirizibwa kw’Ensi Okwalagulibwa Kulijja Ddi?
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Okuwa ‘Obujulirwa mu Mawanga Gonna’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkomerero Eri Kumpi?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 2/08 lup. 10

Ekiraga nti Tulina Okukkiriza Okunywevu!

1. Bizibu ki eby’amaanyi Yesu bye yalagulako?

1 Abatume baawuliriza n’obwegendereza nga Yesu ayogera ku kubeerawo kwe ne ku mafundikira g’embeera z’ebintu bino. Waliwo ebizibu eby’amaanyi ebyandituuse ku lulyo lw’omuntu​—entalo, enjala, musisi, endwadde. Ate era Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandikyayiddwa, bandibonyaabonyezeddwa, era bandittiddwa. Bannabbi ab’obulimba bandizze era bandikyamizza abantu bangi. Okwagala kw’abasinga obungi kwandiwoze.

2. Lwaki kyewuunyisa okulaba ng’amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna?

2 Okusinziira ku ebyo Yesu bye yali ayogeddeko, kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo abayigirizwa be bwe yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gandibuuliddwa mu nsi yonna. (Mat. 24:3-14) Leero tulaba okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo. Wadde nga tuli mu biseera ebizibu ennyo, Abajulirwa ba Yakuwa balangirira n’obunyiikivu amawulire amalungi. Okwagala kw’ensi kugenda kuwola, naye okwaffe kwo kweyongera bweyongezi. Wadde nga tukyayibwa “amawanga gonna,” tubuulira kumpi mu buli ggwanga.

3. Miwendo ki egizzaamu amaanyi egiri mu alipoota y’ensi yonna?

3 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okwekenneenya omulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe baakola mu mwaka gw’obuweereza oguwedde nga bwe gulagibwa mu alipoota y’ensi yonna eri ku lupapula 3 okutuuka ku 6! Okumala emyaka 16 egy’omuddiriŋŋannwa, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa ezisukka mu kawumbi kamu buli mwaka nga babuulira era nga bafuula abantu abayigirizwa. Nga buno bukakafu obulaga nti balina okukkiriza okunywevu! Waaliwo okweyongerayongera kwa butundu 5.8 ku buli kikumi mu muwendo gwa bapayoniya, obutundu 3.1 ku buli kikumi mu muwendo gw’ababuulizi, n’obutundu 4.4 ku buli kikumi mu muwendo gw’abayizi ba Baibuli. Omuwendo gw’abantu abaabatizibwa gwali obutundu 20.1 ku buli kikumi mu mwaka gw’obuweereza ogwayita. Kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nti abantu abakunukkiriza mu bukadde omusanvu baweereza Yakuwa n’obwesigwa​—nga bano bangi nnyo n’okusinga ne bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu! Bwe weekenneenya ebyo ebiri mu alipoota y’ensi yonna, kiki ky’olaba ekikuzzaamu ennyo amaanyi?

4. Bizibu ki omwami omu bye yavvuunuka okusobola okubatizibwa?

4 Wadde ng’emiwendo gino minene, tetusaanidde kwerabira nti gikiikirira abantu abalaze nti balina okukkiriza okunywevu. Lowooza ku kyokulabirako kino. Guillermo yakulira mu Bolivia. Yazaalibwa mu 1935, era yakolanga mu ssamba ya coca okuva nga wa myaka mwenda. Okuviira ddala mu buto bwe, yagaayanga ebikoola bya coca asobole okufuna ku buweerero olw’emirimu egy’amaanyi gye yakolanga. Oluvannyuma yatandika okunywa sigala n’okwekamirira omwenge. Bwe yatandika okuyiga ekyo Yakuwa ky’amwetaagisa, Guillermo yalekera awo okunywa sigala n’okwekamirira omwenge. Omuze ogwasinga okumuzibuwalira okulekayo gwe gw’okugaaya ebikoola bya coca. Yasaba nnyo Yakuwa era oluvannyuma yavvuunuka omuze ogwo. Ng’amaze okulekayo emize gino, yabatizibwa. Agamba nti, “Kati mpulira nga ndi musanyufu nnyo era nga ndi muyonjo.”

5. Kiki kye wandyagadde abantu bonna bakole?

5 Yakuwa ayagala nnyo abantu, era ayagala bonna beenenye. (2 Peet. 3:9) Naffe ekyo kye twagala. Emitima gyaffe ka gitukubirize okukola kyonna kye tusobola okweyongera okuyamba abantu abeesimbu okumanya era n’okwagala Yakuwa nga naffe bwe tukola.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share