Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! n’akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima. Fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ng’okozesa akatabo Sinza Katonda, naddala singa baba bamaze okusoma akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza awamu n’akatabo Atwetaagisa Ki? Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube nnyo okufuna be tuyigiriza Baibuli.
◼ Ebibiina bisaanidde okuwa ababuulizi Watchtower ne Awake! amangu ddala nga zaakatuuka. Ekyo kijja kubayamba okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza bw’ennimiro.
◼ Oyo aba alondeddwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina eby’omwezi gwa Ddesemba, Jjanwali, ne Febwali. Temusaanidde kukozesa muntu y’omu emirundi egy’omuddiriŋŋanwa okwekenneenya ekiwandiiko ky’embalirira y’ekibiina. Ng’ekiwandiiko ky’embalirira y’ekibiina kimaze okwekenneenyezebwa, mutegeeze ekibiina ebyo ebinaaba bivuddemu oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.—Laba obulagirizi obuli mu foomu eyitibwa Instructions for Congregation Accounting (S-27).
◼ Omutwe gw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2008 guli nti “Bagoberera Obulagirizi bw’Omwoyo gwa Katonda.” Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni kajja kubaamu ebyo ebinaakuyamba okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti. Bw’oba weetaaga okusaba mukama wo akukkirize obutaba ku mulimu osobole okubaawo ennaku zonna essatu, tolonzalonza kukikola.