Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Noovemba: Brocuwa The Bible—What Is Its Message? Ebisingawo ebikwata ku kaweefube ow’okugaba brocuwa eno okwetoloola ensi yonna, bijja kututegeezebwa gye bujjako awo. Era muyinza okugaba ne brocuwa zino: A Book for All People, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde? Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka bwe mubeeramu abaana, mugabe Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, ababuulizi bayinza okubawa akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka. Febwali: Ababuulizi bayinza okugaba ekimu ku bitabo bino: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka.