Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Okuva mu mwezi gwa Noovemba 2010 okutuuka mu Jjanwali 2011, bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera 40, ababuulizi 2,580 ne bapayoniya aba bulijjo beenyigira mu kaweefube ow’okubuulira mu bitundu ebiri ewala. Bonna awamu baagaba ebitabo 6,738, brocuwa 17,203, magazini 41,945, era ne bafuna abayizi ba Bayibuli 3,621. Mu butuufu, obujulirwa obw’amaanyi bwaweebwa mu kiseera ekyo.