Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Uganda: Okutwalira awamu, lipoota ya Apuli yonna yalimu entikko empya. Ku babuulizi bonna 5,438, ababuulizi 1,855 be baaweereza nga bapayoniya abawagizi. Omuwendo guno gwakubisaamu kumpi emirundi ena omuwendo gwa bapayoniya abawagizi abaali baweerezzaako mu mwezi ogumu! Mu ssaawa 165,358 ze baamala mu buweereza, baakola okuddiŋŋana kwa mirundi 80,741 era abantu 15,222 be baayigirizibwa Bayibuli. Omuwendo gw’abantu abaaliwo ku Kijjukizo gwalinnya ne gutuuka ku 21,393. Nga kya ssanyu nnyo okulaba ng’abantu ba Yakuwa ‘beemalira ku kubuulira ekigambo’!—Bik. 18:5.