Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 26, 2011.
1. Okubuulirira okuli mu Engero 30:32 kuyinza kutya okutuyamba obuteeyongera kunyiiza muntu gwe tuba tusobezza? [w87-E 5/15 lup. 30 kat. 11]
2. ‘Ssanyu’ lya ngeri ki omuntu ly’afuna n’asigala nga si mumativu? (Mub. 2:1) [g-E 4/06 lup. 6 kat. 1-2]
3. Wadde nga abantu abamu baagamba nti ebigambo bya Sulemaani ebiri mu Omubuulizi 3:1-9 biwagira enzikiriza egamba nti buli ekibaawo Katonda aba yakiteekateeka dda, ebyo bye yawandiika ebiri mu Omubuulizi 9:11 biraga bitya nti ekyo si kituufu? [w09-E 3/1 lup. 4 kat. 4]
4. Kabi ki akali mu ‘kwefuula omutuukirivu ekisukiridde’? (Mub. 7:16) [w10 10/15 lup. 9 kat. 8-9]
5. Oluyimba 2:7 walaga watya nti si kya magezi abo abaagala okuyingira obufumbo okupapa okulonda ow’okufumbiriganwa naye? [w07 2/1 lup. 17 kat. 1; w80-E 4/15 lup. 19 kat. 7]
6. Makulu ki agali mu kuba nti “emimwa” gy’Omusulamu ‘gitonnya ng’ebisenge by’enjuki’ era nti ‘omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi lwe’? (Lu. 4:11) [w07 2/1 lup. 17 kat. 6]
7. Ebitiibwa “Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo,” “Katonda ow’Amaanyi,” ne “Kitaffe ow’Emirembe Gyonna,” bituyamba bitya okutegeera engeri za Yesu n’obufuzi bwe obw’omu nsi empya? (Is. 9:6, NW) [w91-E 4/15 lup. 5 kat. 7]
8. Baani leero abayinza okugeraageranyizibwa ku “ggwanga” lya Isiraeri “ejjeemu,” era ani anaakozesebwa ‘ng’oluga’ lwa Yakuwa okulizikiriza? (Is. 10:5, 6, NW) [ip-1-E lup. 145 kat. 4-5; lup. 153 kat. 20]
9. Lwaki ebyo Isaaya bye yalagula nti Babulooni “tekiisulibwengamu ennaku zonna” byewuunyisa nnyo, era okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo kutuleetera kuba bakakafu ku ki? (Is. 13:19, 20) [g-E 11/07 lup. 9 kat. 4-5]
10. Yesu yaweebwa ddi “ekisumuluzo eky’ennyumba ya Dawudi,” era abadde akikozesa atya? (Is. 22:22) [w09 1/15 lup. 31 kat. 2]