Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 29, 2013. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero buli wiiki.
1. Yesu bwe yayogera ebigambo ebiri mu Makko10:6-9, kiki kye yali ajjukiza abaali bamuwuliriza ku bikwata ku bufumbo? [Mak. 4, w08 2/15 lup. 30 kat. 8]
2. Okuweereza Yakuwa n’obulamu bwaffe bwonna, kitegeeza ki? (Mak. 12:30) [Mak. 4, w97-E 10/15 lup. 13 kat. 4]
3. “Okulumwa” okwogerwako mu Makko 13:8, kye ki? [Mak. 11, w08 3/15 lup. 12 kat. 2]
4. Lukka yanoonyereza wa ebyo bye yawandiika mu Njiri ye? (Luk. 1:3) [Mak. 18, w09 3/15 lup. 32 kat. 4]
5. Okuva bwe kiri nti Sitaani akozesa buli ‘kakisa’ k’afuna okugezesa obugolokofu bwaffe, tusaanidde kukola ki? (Luk. 4:13) [Mak. 25, w11 1/15 lup. 23 kat. 10]
6. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Lukka 6:27, 28? [Mak. 25, w08 5/15 lup. 8 kat. 4]
7. Yesu yasinziira ku ki okusonyiwa omukazi ebibi bye ng’ate yali tannawaayo bulamu bwe ng’ekinunulo? (Luk. 7:37, 48) [Apu. 1, w10 8/15 lup. 6-7]
8. Mu ngeri ki abagoberezi ba Kristo gye balina ‘okukyawamu’ ab’eŋŋanda zaabwe? (Luk. 14:26) [Apu. 15, w08 3/15 lup. 32 kat. 1; w92-E 7/15 lup. 9 kat. 3-5]
9. “Obubonero ku njuba, ku mwezi, [ne] ku mmunyeenye” bwe bunaalabika, kinaakwata kitya ku bantu? (Luk. 21:25) [Apu. 22, w97-E 4/1 lup. 15 kat. 8-9]
10. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yasabangamu, nnaddala nga twolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi? (Luk. 22:44) [Apu. 29, w07 8/1 lup. 4 kat. 6]