Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Ddesemba, abantu 172 be baabatizibwa.
South Sudan: Mu Ddesemba, baatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi n’okuddiŋŋana. Ababuulizi baali 1,274, era ng’okwo kwali kweyongerayongera kwa babuulizi 16 ku buli kikumi bw’ogeraageranya n’omwaka oguwedde. Abantu 3,961 be baaliwo mu nkuŋŋaana za disitulikiti mu 2012, era 46 be baabatizibwa.
Sudan: Mu Ddesemba, abantu 920 be baayigirizibwa Bayibuli, era ekyo kizzaamu nnyo amaanyi! Abantu 927 be baaliwo mu nkuŋŋaana za disitulikiti mu 2012, era 6 be baabatizibwa.