Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Ssebutemba, bapayoniya 26 be baali mu Ssomero lya Bapayoniya eryali mu lulimi lwa bakiggala eryasooka mu Kenya.
South Sudan: Mu Agusito, baalina ababuulizi 1,288 era abantu 3,222 be baayigirizibwa Bayibuli. Waaliwo okweyongerayongera kwa babuulizi 9 ku buli kikumi mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2013.
Sudan: Mu Agusito, baalina ababuulizi 458, era abantu 884 be baayigirizibwa Bayibuli.