Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Ssebutemba ne Okitobba: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Noovemba ne Ddesemba: Kiki Ddala Bayibuli ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, oba Okubonaabona Kuliggwaawo?
◼ Emboozi ey’enjawulo eneeweebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2015 ejja kuweebwa mu wiiki etandika nga Apuli 6. Omutwe gw’emboozi eyo gujja kubategeezebwa gye bujja. Ebibiina ebinaaba bikyazizza omulabirizi w’ekitundu oba ebinaaba n’olukuŋŋaana olunene ku wiikendi ya wiiki eyo bijja kuba n’emboozi ey’enjawulo mu wiiki eddako. Emboozi eyo ey’enjawulo tesaanidde kuweebwa nga Apuli 6 terunnatuuka.
◼ Okuva mu Ssebutemba, abalabirizi abakyalira ebibiina bajja kuwa emboozi erina omutwe ogugamba nti “Engeri Amagezi Agava eri Katonda Gye Gatuganyulamu.”