Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Apuli, waaliwo Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu olwasookera ddala mu lulimi lwa ba kiggala olw’e Kenya, era abantu 395 be baaliwo. Abantu 115 ku bo baali bakiggala era bakiggala 6 be baabatizibwa.
Uganda: Lipoota y’obuweereza eya Maaki 2014 yalaga nti waaliwo entikko empya ya babuulizi 6,468, entikko empya eya magazini ezaagabibwa, ey’okuddiŋŋana, n’ey’abayizi ba Bayibuli.