LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/14 lup. 7
  • Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Similar Material
  • Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Weteeseteese Okuyimbira Yakuwa mu Nkuŋŋaana Zaffe?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Muyimbire Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Ebinaakuyamba mu Kwesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 12/14 lup. 7

Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!

1 Ku lukuŋŋaana olubaawo buli mwaka olwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, olwaliwo nga Okitobba 4, 2014, kyalangirirwa nti waliwo enkyukakyuka ezigenda okukolebwa mu katabo kaffe ak’ennyimba. Amawulire ago gaali ga ssanyu nnyo! Bonna abaaliwo bajjukizibwa nti ennyimba zaffe ez’Obwakabaka nkulu nnyo mu kusinza kwaffe.​—Zab. 96:2.

2 Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Lwaki kyetaagisa okukola enkyukakyuka mu katabo kaffe ak’ennyimba?’ Waliwo ensonga eziwerako. Ekisookera ddala, okutegeera kwaffe okw’Ebyawandiikibwa kugenda kweyongerayongera era ng’ekyo oluusi kikwata ne ku bigambo ebiri mu nnyimba zaffe. (Nge. 4:18) Ensonga endala eri nti, mu nnimi nnyingi ebigambo bingi ebiri mu katabo k’ennyimba ke tukozesa kati byaggibwa mu Bayibuli ya New World Translation enkadde. Ebigambo ebyo birina okukyusibwa bisobole okukwatagana n’ebyo ebiri mu New World Translation eya 2013. Olw’okuba okukola enkyukakyuka ezo mulimu gwa maanyi, kyasalibwawo nti mu katabo kaffe ak’ennyimba mujja kwongerwamu ennyimba ntono.

3 Kati olwo okusobola okuyimba ennyimba ezo empya tulina okulinda okutuusa lwe tunaafuna akatabo akapya? Nedda. Mu myezi egijja, ezimu ku nnyimba empya zijja kuteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org. Oluyimba olupya bwe lunaabanga lufulumiziddwa, lujja kuteekebwa ku nkomerero y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza nga luliko ebigambo, “luyimba lupya.”

4 Engeri y’Okuyigamu Ennyimba Empya: Si kyangu kuyiga luyimba lupya. Wadde kiri kityo, okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tusaanidde okuyimba nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe so si ‘kusirika.’ (Zab. 30:12) Okusobola okuyiga oluyimba olupya, kola bino.

  • Wuliriza amaloboozi g’oluyimba olwo agajja okuteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Bw’onoogawuliriza enfunda n’enfuda, kijja kukwanguyira okuluyiga.

  • Soma ebigambo by’oluyimba olwo, era ofube okubikwata mu mutwe.

  • Yimba ebigambo ebyo ng’ogoberera amaloboozi gaalwo. Kola bw’otyo okutuusa ng’oyize oluyimba olwo.

  • Mwegezeemu mu nnyimba empya nga muli mu Kusinza kw’Amaka okutuusa ab’omu maka lwe banaayiga ennyimba ezo.

5 Mu myezi egijja oluyimba olupya bwe lunaaba nga lwe lulina okuyimbibwa ku nkomerero y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza, ab’oluganda bajja kuwuliriza omulundi gumu amaloboozi gaalwo. Oluvannyuma bajja kuluyimba nga bwe tukola nga tuyimba ennyimba endala.

6 Bwe tuyimbira awamu mu nkuŋŋaana zaffe, ffenna tuba basanyufu kubanga tuba tutendereza Yakuwa. N’olwekyo, si kirungi kufuluma bweru ng’oluyimba lugenda kutandika.

7 Waliwo engeri endala gye tuyinza okulagamu nti tusiima ennyimba zaffe ez’Obwakabaka. Ku nkuŋŋaana zaffe ennene, wabaawo obuyimba obuteekebwako ku ntadikwa ya buli kitundu. Emirundi ebiri buli mwaka, baganda baffe ne bannyinnaffe bava mu nsi ez’enjawulo ne bagenda e Patterson mu New York nga bakozesa ssente zaabwe, basobole okuyambako mu kufulumya ennyimba ennungi ennyo ze tukozesa mu kusinza. N’olwekyo, ssentebe bw’atusaba tufune aw’okutuula tusobole okuwuliriza obuyimba obwo, tusaanidde okukikola. Ekyo kijja kutusobozesa okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okussaayo omwoyo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso.​—Ezer. 7:10.

8 Leero tugenda kufundikira olukuŋŋaana lwaffe nga tuyimba oluyimba olupya olulina omutwe ogugamba nti, “Obwakabaka Bwassibwawo​—Ka Bujje!” Oluyimba luno olwayogerwako ku lukuŋŋaana lw’omwaka olwa 2014, lwategekebwa okutujjukiza nti Obwakabaka bwa Katonda bumaze emyaka 100 nga bufuga.

9 Ennyimba ezo empya ddala ‘bintu birungi’ okuva eri Yakuwa! (Mat. 12:35a) Ka tukole kyonna ekisoboka okuyiga ennyimba zino empya era tuziyimbe okuviira ddala ku mutima nga tutendereza Yakuwa era nga tumuwa ekitiibwa!​—Zab. 147:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share