Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Maaki baagaba tulakiti, obutabo, ne brocuwa 1,073,289, era ng’eyo yali ntikko mpya.
South Sudan: Mu Maaki baatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 1,293.
Sudan: Mu Maaki baagaba tulakiti, obutabo ne brocuwa 8,925, era ng’eyo yali ntikko mpya.
Tanzania: Baagaba ebitabo 10,514 ne magazini 226,015, era ng’ezo zaali ntikko mpya. Ekimu ku byabayamba okutuuka ku ntikko ezo, kwe kubuulira mu bifo awayita abantu abangi nga bakozesa obugaali n’emmeeza okuli ebitabo.