LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Maaki lup. 7
  • Okuzuukira—Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuzuukira—Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Essuubi ly’Okuzuukira—Lirina Makulu Ki gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • “Nnina Essuubi mu Katonda”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Maaki lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okuzuukira Kusoboka Okuyitira mu Kinunulo

Ng’ab’eŋŋanda n’emikwano bamaze okukaaba okumpi n’akatanda okuli omufu, muganda w’omufu abudaabudibwa bw’alowooza ku ssuubi ery’okuzuukira

Omukolo gw’Ekijjukizo gutuwa akakisa okufumiitiriza ku mikisa gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso olw’okuba Yesu yatufiirira. Ogumu ku mikisa egyo kwe kuzuukira. Yakuwa yatonda abantu nga si ba kufa. Eyo ye nsonga lwaki tuwulira ennaku ey’amaanyi bwe tufiirwa. (1Ko 15:26) Yesu yawulira ennaku bwe yalaba ng’abayigirizwa be bakaaba nga Laazaalo afudde. (Yok 11: 33-35) Okuva bwe kiri nti Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa naye awulira bubi bw’alaba nga tukaaba olw’okufiirwa abantu baffe. (Yok 14:7) Yakuwa yeesunga nnyo okuzuukiza abaweereza be, era naffe twesunga ekiseera ekyo.​—Yob 14:14, 15.

Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda wa ntegeka, tuba batuufu okugamba nti n’okuzuukira kujja kubaawo mu ngeri entegeke obulungi. (1Ko 14:33, 40) Mu kifo ky’emikolo gy’okuziika, wayinza okubaawo embaga ez’okwaniriza abo abanaaba bazuukiziddwa. Otera okufumiitiriza ku kuzuukira, naddala ng’ofiiriddwa? (2Ko 4:17, 18) Weebaza Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo era n’okutuwa essuubi ery’okuzuukira?​—Bak 3:15.

  • Mikwano gyo ki oba baani ku b’eŋŋanda zo b’osinga okwagala okuddamu okulaba?

  • Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli b’osinga okwagala okulaba n’okwogerako nabo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share