Ssebutemba 5-11
ZABBULI 119
Oluyimba 48 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’: (Ddak. 10)
Zb 119:1-8—Bwe tutambulira mu mateeka ga Katonda tufuna essanyu erya nnamaddala (w05 5/1 3 ¶3-4)
Zb 119:33-40—Ekigambo kya Katonda kituyamba okugumira ebizibu (w05 5/1 6 ¶12)
Zb 119:41-48—Bwe tutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda kitusobola okubuulira n’obuvumu (w05 5/1 6 ¶13-14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 119:71—Miganyulo ki egiyinza okuva mu kubonaabona? (w06 10/1 30 ¶4)
Zb 119:96—Omuwandiisi wa zabbuli yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Nkirabye nti ebintu byonna ebituukiridde biriko ekkomo”? (w06 10/1 30 ¶5)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigirizza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 119:73-93
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula ezaabwe.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza”: (Ddak. 5) Kwogera.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 10) Oyinza okusalawo okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 59-62)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) ia sul. 23 ¶15-29, eby’okulowoozaako ku lup. 204
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 13 n’Okusaba